Amawulire
Buli Lwamukaaga Bulungi-Bwansi mu Lubiri
Bya Shamim Nateebwa Ssentebe wakakiiko akateekateeka amattikira ga Kabaka agemyaka 25 ngali ku Namulondo Owek. Twaha Kawaase asabye Obuganda okuvaayo buli lwamukaaga okwetaba mu mirimu gya bulungi-bwansi mu lubiri awagenda okubeera emikolo gya jubireewo. Mu kwogerako ne banamawulire mu lubiri owek. Kawaase asabye buli muntu okuvaayo okutandika n’olwomukaaga […]
Omusajja asse mukazi we
Bya Magembe Sabiiti Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Busula-Kikandwa mu gombolola ye Kalwana e Mubende omusajja bwawadde mukazi we obutwa namutta. Omugenzi ye Nyinagirimaana Edisa ng’ono asangiddwa nga afiridde mu nyumba ye. Omwogezi wa police mu Wamala Region Nobert Ochom ategezezza ngokunonyereza kwa police bwekulaga […]
Owa Boda Boda awawabidde kitaawe olwo’kumwegaana
Bya Ruth Anderah Omugoba wa boda boda akubye kitaawe mu mbuga z’amateeka lwakumwegaana. Masembe Najibu Muhammad ow’emyaka 35 yakubye kitaawe Hajji Musa Luyombya Mayanja mu kkooti ng’agamba nti yamwegaana atenga nyina okufa yaleka amugambye nti ye kitaawe. Masembe agamba nti kitaawe ono Hajji Mayanja amanyi […]
Ab’emasaka bekalakaasiza lwa nguudo.
Bya Getrude Mutyaba. E Masaka Police n’amagye bakedde kugugulana n’abavubuka abeekumyemu ogutaaka lwa luguudo olubi oluva mu Nyendo okudda e Masaka. Abavubuka bano nga bakulembeddwamu Ssansa Appolo,era nga ye kansala w’olukiiko lwa Nyendo-Ssenyange bagamba nti bakooye okubuzabuzibwa ab’ekitongole kya UNRA ekirudde nga kibasuubiza okubakolera […]
Amataba gagadde oluguudo lwe Mbale – Moroto .
Bya Ben Jumbe. Ekitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda national Roads Authority kikubirizza abagoba b’emotoka abakozesa olugudo olwa Mbale okudda Moroto , okukyuka bakozese oluguudo lwe Muyembe – Nakapiri , nga kino kidiridde enguudo zino okujjula amazzi. Bino bigidde mukadde nga enkuba ey’amaanyi etonya, […]
Banakyewa bakolokose okwogera kwa Pulezidenti ku nguzi.
Bya samuel ssebuliba. Oluvanyuma lwa president okutegeeza nga bwagenda okutonzeewo akakiiko akagenda okunonyereza ku nguzi, byo ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa enguzi ,kuno bikuyise kugereesa nakumala budde. Kinajukirwa nti olunaku lw’eggulo omukulembeze we gwanga bweyabadde ayogerako eri eggwanga yagambye nti kalisoliiso wa government alazeemu obunafu, kale nga […]
Bamusobezaako nebamutta.
Bya Shamim Nateebwa. Abatuuze be Kazo wano kawempe Division bakaabidde polisi okwongera eby’okwerinda mu kitundu kyabwe okubataasa ku bantu abagufudde omuzze okutta n’okusobya kubawala. Kino kiddiridde Omuwala Esther Nakigudde 23 eyagenze mu kusaba kw’ekiro ku kkanisa ya UCC eNabweru kyoka bweyabadde akomwo naggwa mu basajja […]
Eyatisatiisa eyali muganziwe aggaliddwa.
Bya Ruth Anderah Waliwo omusajja ow’emyaka 26 asindikiddwa mu komera e Luzira agira yebakayo lwakutisatisa kutuusa bulabe ku mukazi gwabadde ayagala okuganza. Aggaliddwa ye Mbagatuzinde Mahad nga muzimbi ku kyalo Kikulu mu Kampala Ono avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala […]
Omuliro gusse abantu babiri e Mubende.
Bya Magembe Ssabiiti. Abaana babiri bafiridde muliro ogukute enyumba mwebabadde basula n’abalala basatu nebafuna ebisago ebyamanyi. Ettemu lino libadde ku kyalo Kikandwa mu gombolola ye Gayaza mu district ye Kyankwanzi nga abafudde kwekuli Muhoozi myaka 4 ne Kabalokole myaka 2 . Abafunye ebisago kwekuli Kasasira […]
Gen Tumwine aweze okumalawo obumenyi bw’amateeka.
Bya Kyeyune Moses. Minisita akola ku by’obutebenkevu Gen Elly Tumwine ategeezeza nga bwagenda okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obutadde banna- uganda ku bunkenke. Ono wayogeredde bino nga waliwo abateberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka bangi abazze bakwatibwa, omuli abateberezebwa okutta omugenzi Andrew Felix kaweesi, omuwala Suzan Magara kko n’abalala. […]