Amawulire

Buli Lwamukaaga Bulungi-Bwansi mu Lubiri

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ssentebe wakakiiko akateekateeka amattikira ga Kabaka agemyaka 25 ngali ku Namulondo Owek. Twaha Kawaase asabye Obuganda okuvaayo buli lwamukaaga okwetaba mu mirimu gya bulungi-bwansi  mu lubiri awagenda okubeera emikolo gya jubireewo.

Mu kwogerako ne banamawulire mu lubiri owek. Kawaase asabye buli muntu okuvaayo okutandika n’olwomukaaga luno bayoyote olubiri era wano wasinzidde nasaba banamikago nabantu ssekinomu okuwaayo kyebalina kulwe ntekateeka zemikolo gino.

Omukolo guno gwakubaako abantu abasoba mu mitwalo 3 ngejimu ku mikolo ejikulembeddemu kuliko omwoleso ng 24 omwezi guno okutuuka nga 1 omwezi ogujja olwo nga 31 omwezi ogwomusanvu gematikira ga beene.