Amawulire

Banakyewa bakolokose okwogera kwa Pulezidenti ku nguzi.

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Oluvanyuma lwa president okutegeeza nga bwagenda okutonzeewo akakiiko akagenda okunonyereza ku nguzi, byo ebibiina by’obwanakyeewa ebirwanyisa enguzi ,kuno bikuyise kugereesa  nakumala budde.

Kinajukirwa nti olunaku lw’eggulo omukulembeze we gwanga bweyabadde ayogerako eri eggwanga yagambye nti kalisoliiso wa government alazeemu obunafu, kale nga kwekusalawo ateekewo akakiiko akalala akagenda okunonyereza ku nsonga zino.

Twogedeko ne Cissy Kagaba nga ono yakulira ekibiina ekya Anti-corruption coalition Uganda n’agamba nti kuno kumala budde kubanga kano akakiiko keetaga ensimbi, kyoka nga ne kalisoliso wa government ekimulemesezza okukola bula lya nsimbi.

Kati ono agamba nti engeri yokka eyokulwanyisaamu enguzi mu gwanga kugenda kuba kuteekawo mbeera esobozesa kalisoliiso wa govument okukwata nekubanene mu government.