Amawulire

Bamusobezaako nebamutta.

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Abatuuze be Kazo wano kawempe Division  bakaabidde polisi okwongera eby’okwerinda mu kitundu kyabwe okubataasa ku  bantu abagufudde omuzze okutta n’okusobya kubawala.

Kino kiddiridde Omuwala Esther Nakigudde 23 eyagenze mu kusaba kw’ekiro  ku kkanisa ya UCC eNabweru kyoka bweyabadde akomwo naggwa mu basajja abaamusobezaako  oluvanyuma ne bamutta.

Joseph Kakooza akuliira eby’okwerinda  mu muluka gwa Kazo  gwetusanze ku gwaniika ategezezza nti omulambo gwazulidwa nga gusulidwa mu kidiba ku kkanisa ya UCC e Kazo