Amawulire

Eyatisatiisa eyali muganziwe aggaliddwa.

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Waliwo omusajja  ow’emyaka  26  asindikiddwa   mu komera   e Luzira  agira yebakayo  lwakutisatisa  kutuusa  bulabe  ku  mukazi  gwabadde  ayagala okuganza.

Aggaliddwa ye Mbagatuzinde Mahad  nga muzimbi   ku  kyalo  Kikulu  mu  Kampala

Ono avunaniddwa  mu  kkooti  ya  City  Hall  mu  maaso  g’omulamuzi  we  daala  erisoka  Beatrice  Kainza  neyegaana  omusango.

Kigambibwa  omusajja  ono  nga  May  28th 2018  ng’ayina  ekigendererwa eky’okunyiza  Masaka  Fatia  yamutisatisa  okumutusako  obulabe.