Amawulire

Akabenje katuze babiri e kabale.

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba. Waliwo abantu babiri abatokomokedde mu kabenje akagudde ku kyalo  Kakatunda  ku luguudo olugatta Kabale ku Mbarara . Kano akabenje okugwawo kidiridde  taxi number o UBB 883V  okugwa neyeefuula emirundi egiwerako Ayogerera police yeeno  Elli Matte  agambye nti  abafudde kuliko Manikuze Charles  ow’emyaka […]

E mityana omuliro gusse abantu babiri.

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Magembe Ssabiiti. Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namukoze mu central division mu kibuga Mityana abantu 2 bwebafiridde mu muliro ogukute enyumba mwebabadde basula. Abafudde kuliko Namukadde Nakabugo Annet ow’emyaka 55 ne muzukulu we Kabanda Nicolas ow’emyaka 3  atenga Kalule Gideon owemyaka 4 asobodde okusimatuka omuliro […]

Abalamazi abaakafuna obujanjabi bali 400.

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe. Ekitongole eky’omusalaba  omumyufu ekya Uganda Redcross  kitegeezeza nga buli kadde bwekyongera okufuna abalamazi abeetaga obujanjabi  obwamangu kubigwa by’abajulizi byonna. Bino bigidde mukadde nga abalamazi abatuuka e Namugongo nadala abatambuzza ebigere buli kadde beeyongera obungi , nga beetegekera olwa 3rd  ku Sunday eno. […]

Bamusiga nsimbi bakubiddwa kubula kuffa.

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo. Police e Buwama eriko abavubuka 14 beekutte neggalira nga bano kigambibwa nti bakkakkanye ku bazungu babiri banansi be gwanga elya Germany nebabakuba ebitagambika. Aduumira police y’e Buwama Joseph Kamukama atutegeezezza nti abakwate bavuzi ba boda-boda ku kyalo Buwungu ku luguudo oluva e […]

NRM ekirizza nga bweyameggeddwa e Rukungiri.

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe. Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyadaaki kikirizza nga bwekyawanguddwa mu kulonda kw’omubaka omukyala owa district ye Rukungiri. Omwogezi w’ekibiina kino Rogers Mulindwa mu kiwandiiko ky’afulumizza, agambye nti ddala bawanguddwa nayenga balina essuubi nti ekibiina kyakuwangulwa mu kulonda ebiseera eby’omumaaso. Ategezeza nti […]

Muzanira owa FDC awangudde e Rukungiri

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe Aboludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya Forum for Democratic Change bawangudde okulonda kwomubaka omukyala owa district ye Rukungiri mu palamenti, akalulu akabaddeko nobugombe. Okusinziira ku birangiriddwa owa FDC Betty Muzanira awanguliidde ku bululu emitwalo 5 mu 611, ngadiriddwa munna NRM bwebabadde ku […]

Gavumenti yetegekedde Namugongo.

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Minisitule ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bweyetegese ekimala  okulaba nga okulamaga kwe  Namugongo kubeera kwamirembe. Dr Henry Mwebesa  nga ono yakola ku  by’obujanjabi mu minitule eno agambye nti ebikozesebwa byonna mukujanjaba okuli edagala byatuusedda mukifo kino okulaba nga mpaawo ajula. Ono agambye […]

Omulalu asse omusumba- amusanze mu nimiro.

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2018

No comments

Bya Magembe Ssabiti. Police e Mubende ekutte omulalu ategerekese nga Ssebiranda Tito , nga ono asanze omusumba  ng’alima n’amukuba emiggo egimusse. Bino bibadde ku kyalo Kijwanganya mu gombolola ye Bukuya e Mubende ng’atiddwa ye Musoke Sserugo ow’emyaka 48  era nga abadde musumba wa kanisa ya […]

Abantu abakozesa taaba bongedde okukendeera.

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba. Okunonyereza kulaze nga abantu abakomonta sigala bwebakendedde munsi yonna. okunonyereza kuno okukoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu kulaze  nga abakomota taaba bwebakendedde wakati w’omwaka 2000 okutuusa kakano. Alipoota eno eraze nti mu mwaka 2005  munsi yonna mwalimu abantu  obukadde  1134  abakozesa […]

Eyatta abaanabe akaligiddwa.

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2018

No comments

Bya  ISAAC OTWII Kooti enkulu wano e Lira eriko omusajja ow’emyaka 38  gwekutte nga ono emulanze gwakutta banaabe babiri Omusajja ono Babu Opio nga mutuuze we Abalang wano mu Dokolo yasindikiddwa mu komera e lira okutuusa nga June 20 oluvanyuma lw’okutegeeza omulamuzi Alex Ajiji nti […]