Amawulire

NRM ekirizza nga bweyameggeddwa e Rukungiri.

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kyadaaki kikirizza nga bwekyawanguddwa mu kulonda kw’omubaka omukyala owa district ye Rukungiri.

Omwogezi w’ekibiina kino Rogers Mulindwa mu kiwandiiko ky’afulumizza, agambye nti ddala bawanguddwa nayenga balina essuubi nti ekibiina kyakuwangulwa mu kulonda ebiseera eby’omumaaso.

Ategezeza nti ssabawandiisi wekibiina Justine Kasule Lumumba ebyavudde mu kulonda wakubyanjula eri akakiiko ak’okuntiko akafuga e kibiina bawabulwe.