Amawulire

Abantu abakozesa taaba bongedde okukendeera.

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Okunonyereza kulaze nga abantu abakomonta sigala bwebakendedde munsi yonna.

okunonyereza kuno okukoleddwa ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu kulaze  nga abakomota taaba bwebakendedde wakati w’omwaka 2000 okutuusa kakano.

Alipoota eno eraze nti mu mwaka 2005  munsi yonna mwalimu abantu  obukadde  1134  abakozesa taaba, kyoka nga bano baali besaze nobukadde 9 okuva mu mwaka 2000.

Alipoota eraga nti mubanga ely’emyeka 10 nga nga liyiseewo abantu obukadde obulala 20 nabo baasalawo okuva ku  taaba

Kati bano bagamba nti singa  amawanga gongera okunyweza amateeka ku nkozesa ya taaba wegunakonera omwaka 2025  nga abantu abalala 20 bavudde ku ky’okukozesa taaba.