Amawulire

Bamusiga nsimbi bakubiddwa kubula kuffa.

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo.

Police e Buwama eriko abavubuka 14 beekutte neggalira nga bano kigambibwa nti bakkakkanye ku bazungu babiri banansi be gwanga elya Germany nebabakuba ebitagambika.

Aduumira police y’e Buwama Joseph Kamukama atutegeezezza nti abakwate bavuzi ba boda-boda ku kyalo Buwungu ku luguudo oluva e Mawokota okudda e Butambala.

Bano okubakwata kiddiridde bamusigansimbi  okuddukira ku police nebategeeza nti bakubiddwa bubi nnyo abavubuka bano nebabanyagako ensimbi zaabwe mpitirivu.

Bano babadde balambula ttaka kwebagenda okuzimba ekkolero erikamula omubisi okuva mu kibala ekya ffene mu kitundu ekyo.

Kati police etuuse e Buwungu n’ekwata abakubye bamusigansimbi bano ne piki zaabwe neeziwamba.