Amawulire

Gavumenti yakukebera abalamazi Ebola

Ivan Ssenabulya

May 28th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses Eyo nga tuvuddeyo, gavumenti etaddewo ebiffo ebyenjawulo okukebera ekirwadde kya Ebola mu balamazi abagenda okulamaga e Namugongo omwaka guno. Bino webijidde nga Ebola yakatuka abantu abasoba mu 20 ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo. Minister omubeezi owebyobulamu Sarah Opendi […]

Abazadde balabuddwa okukuuma abazadde

Ivan Ssenabulya

May 28th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya Ngolusoma oluppya lutandika olwaleero, akakiko ake ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission kajjukizza abazadde okubeera abegendereza nokufaayo okwewala okubawamba. Okusinziira ku ssentebbe wakakiiko Meddy Kaggwa ategezeza nti waliwo obwetaavu okusomesa abaana benyini kungeri gyebayinza nga bava […]

Nantongo Ziwa wakuliyirirwa obukadde 1200.

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba. Kooti ey’omukago gwa East Africa  kyadaaki etyemudde omusango ogwawabwa eyali speaker wa palamenti eno omukyala Nantongo ziwa nnga ono yali awakanya  kyokumujja kubwa speaker olw’empaka. kooti ekikakasizza nti eky’okujja Ziwa mubuyinza kyakolebwa mubukyamu, kale nga alina okusasulwa obukadde bw’ensimbi za uganda  1200. […]

Okulwiisa abasibe mu makomera kweyongedde.

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda. Omuwandiisi w’akakiiko akakola ku by’ekiramuzi aka Judicial service commission Ronald Ssekagya alaze obwenyamivu olw’omuwendo gw’abasibe  abakyanonyerezebwako abali mu makomera okweyongera buli kadde. Ssekagya agamba nti mumateeka abasibe bano abakyateberezebwa balina okumala  mu komera emyezi mukaaga gyoka,kyoka kino kigenze kikyuka, era nga kaakano […]

Abaserika abatulugunya abantu bagwana kusibwa.

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Ritah Kemigisa. Akakiiko akakola ku nsonga z’edembe ly’obuntu kategeezeza nga police bwegwana okwongera okuweebwa obukugu obwetagisa, kino kiyambe okukendeeza ku bikolwa eby’okutulugunya abantu naddala abateberezebwa okuzza emisango. Bwabadde ayogerako ne banamawulire, ssentebe w’akakiiko kano  Meddy Kaggwa  agambye nti situgaanye ssabapolice  yajeewo ekitongole ekya flying squad […]

Okulonda kw’obukiiko obw’ebyalo kwengedde.

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Akakiiko akebyokulonda nate kafulumizza entekateeka egenda okugobererwa mu kulonda kwobuiiko bwebyalo. Bwabadde ayogera ne banamwulire ssentebbe w’akakiko k’ebyokulonda mu gwanga, omulamuzi Simon Byabakama ategezeza nti bataddewo olwanga 10th July okulonderako ba ssentebbe be byalo. Muntekateeka eno wagenda kubaawo okusunsulamu abanavuganya ng’ennaku zomwezi […]

Eyasse owe 16 Bamukutte

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya Malikih Fahad Poliisi e Sembabule eriko omusajja owemyaka 22 gwegalidde nga kigambibwa nti yakidde akalenzi akemyaka 16 nakatta. Omukwate kitegezeddwa nti mulaalo nga mutuuze we Kyoloola mu Town council ye Sembabule. Kigambibwa nti yakubye Fred Kaleebu ekitti ku mutwe ekyamuviriddeko okufa. Abatuuze bategezeza nti […]

Gwebakwatidde mu bubbi bamutemyeko akagere

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo Abatuuze mu kabuga k’e Buwama mu district ye Mpigi baliko omuvubuka gwebatemyeko akagere lwakumukwatira mu bubbi. Yusuf Sseggujja owemyaka 18 kigambibwa nti asangiddwa lubona mu kiro ekikeesezza olwaleero ng’awagula amatooke g’omusuubuzi omu mu katale ke Nalutaaya, kinnya na mpindi ne police y’e […]

Abe Mukono bawakanyizza ekya poliisi okubongera obudde

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abakulembeze e Mukono bavudeyo okuwakanya okusaba kwa police okugyongera obudde bwegaliramu abantu okuva ku ssaawa 48 okudda waggulu. Amyuka omwogezi wa gavumenti Col Shaban Bantariza yabadde ategezezza nti essaawa 48 tezimala police okunonyereza naddala ku misango eminene. Wabula abamu ku bakulembeze be […]

Abatuuze balumbye RDC nga bawakanya entekateeka ya gavumenti

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Abatuuze ku byalo Kisowera, Kituuba, Canansite ne Mpoma Nama mu district ye Mukono babadde nokwekalakaasa okwemirembe nga bawakanya entekateeka yekitongole kya Atomic Energy Council okuzimba etterekero lyamayengo oba radiation mu kitundu kyabwe. Abatuuze bagamba nti kino kyabulabe eri obulamu bwabwe nga bawera […]