Amawulire

Abazadde balabuddwa okukuuma abazadde

Ivan Ssenabulya

May 28th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya

Ngolusoma oluppya lutandika olwaleero, akakiko ake ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission kajjukizza abazadde okubeera abegendereza nokufaayo okwewala okubawamba.

Okusinziira ku ssentebbe wakakiiko Meddy Kaggwa ategezeza nti waliwo obwetaavu okusomesa abaana benyini kungeri gyebayinza nga bava awaka okutuuka ku masomero mungeri.

Ono awabudde nti abazadde batekeddwa okukomya okuwa abaana eddembe erisukiridde, kubanga banditayaaya ate nebamaliriza nga bafudde.

Obubaka bwa ssentebbe Meddy Kaggwa webujidde ngekiwamba nekitta abantu kyeyongedde okwetoola egwanga.

Ate amasomero agatalina bisaanyizzo galabuddwa obutaggulawo okutuusanga geterezezza.

Okulabula kuno kukoleddwa omulambuzzi w’amassomero mu munisipaali ye Mukono Olivia Bulya.

Bulya agambye nti essomero lyonna erinasangibwa nga liguddewo nga telinaba kutukirizza bisaanyizzo abaliddukanya bakukwatibwa era bakuvunaanibwe.

Alabudde nti bananyini go tebeyibaala nga balowooza nti okuggala amasomero gwakoma, wabula agambye nti kwakugenda mu maaso.