Amawulire

Okulwiisa abasibe mu makomera kweyongedde.

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda.

Omuwandiisi w’akakiiko akakola ku by’ekiramuzi aka Judicial service commission Ronald Ssekagya alaze obwenyamivu olw’omuwendo gw’abasibe  abakyanonyerezebwako abali mu makomera okweyongera buli kadde.

Ssekagya agamba nti mumateeka abasibe bano abakyateberezebwa balina okumala  mu komera emyezi mukaaga gyoka,kyoka kino kigenze kikyuka, era nga kaakano bawangalirayo ddala.

Ono agamba nti bakizudde nga abasibe abasuka mu 1,000 bebali mu makomera, kyoka nga kino kimenya mateeka.

Kati ono asabye ekitongole ekiramuzi okusitukiramu kikole ku nsonga eno.