Amawulire

Abaserika abatulugunya abantu bagwana kusibwa.

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2018

No comments

Ritah Kemigisa.

Akakiiko akakola ku nsonga z’edembe ly’obuntu kategeezeza nga police bwegwana okwongera okuweebwa obukugu obwetagisa, kino kiyambe okukendeeza ku bikolwa eby’okutulugunya abantu naddala abateberezebwa okuzza emisango.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire, ssentebe w’akakiiko kano  Meddy Kaggwa  agambye nti situgaanye ssabapolice  yajeewo ekitongole ekya flying squad  ekigambibwa okuliisa abantu akakanja, nga kwogase n’okuggalawo Nalufenya, naye kino tekimala kusanyaawo bikolwa eby’okuliisa abantu akakanja.

Kati ono agamba nti kyetagisa okutwala abaserikale abemenyi b’amateeka mu kooti bavunanibwe, songa n’abaliisibwa akakanja beetaga kuliyirirwa ate mubudde.