Amawulire

Eid ekakasiddwa Ya’lunnaku lwankya

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Eri abayisiraamu omwezi gulabise era okusaala Eid kwa lunnaku lwankya. Akulira ebya Sharia ku kitebbe yobusiraamu ku Uganda Muslim Supreme Council Sheik Yahay Ibrahim Kakungulu yakaksizza ngokusaala Eid El Fitri . Ategezeza nti okusaala kwakubeera ku muzikiti omukulu ku kasozi Kampala Mukadde okutandika essaawa […]

Gen Kale Kayihura aggaliddwa mu nkambi y’amagye e Makindye.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya ssebuliba samuel. Amagye ge gwanga aga  UPDF gakakasizza nga bwegalina eyaliko omuduumizi wa polisi Gen Kale kayihura , era nga kakano akuumirwa  mu  Baracks yamagye wano e Makindye. Ekiwandiiko ekituwerezeddwa nga kiriko omukono gw’ayogerera amagye ge gwanga Brig. Richard Kalemire, kiraze nga kayihura bweyakimiddwa […]

Presidenti Museveni alabudde abamawulire-“Monitor”

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Sam Ssebuliba Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alabudde nti tajja kukiriza enkola eyokuwanga abatemu nabantu abalala abali ku misango eminene okweyimirirwa. Wano alabudde poliisi nabekitongole ekiramuzi obutamala gawa bantu abali ku misango egya namunkululu okweyimirirrwa, okulya obutaala. Presidenti Museveni bino […]

Ebyenfuna bye gwanga by’akukula ku misinde gya bitundu 5.8%.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba ne Kyeyune moses. Embalirira ye gwanga eyomwaka gwebyensimbi omugya 2018/19 esomeddwa ku Serena Conference Centre mu Kampala. Mu lutuula olukubirizibwa speaker Rebbecca Kadaga, Minista owebyensimbi Matia Kasija agambye nti ebyenfuna bye gwanga byakukula ku 5.8% mu mwaka gwebyensimbi  2018/19, bwogerageranya ku 3.9% […]

Ekizimbe kya church house kikwasiddwa ekanisa ya uganda.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.   Olunaku olwaleero  company eyawebwa ogw’okuzimba ekizimbe ekya church house kaakano ekibuddwamu elya St Janani Luwum Church House wano ku Kampala Road  bamaliririzza omuliomo, era ekizimbe nebakikwasa abakulu mu kanisa ya uganda. Bwabadde akwasibwa ekizimbe kino, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda His […]

Ssabasajja awerezza obubaka obwebaza abasiramu okusiiba.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa. Nga  bannaffe abayisiramu balinda bulinzi kulaba okuboneka kw’amezi okusobola okusaala Eid eno, ssabasajja kabaka wa Buganda  bano abawerezza obubaka obubeebaza ekisiibo. Mububaaka bwe ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alazze obw’enyamivu olw’ebikolwa eby’okuwamba n’okutta abantu ebikula buli kaddde. On agambye nti  oluvanyuma […]

Embalirira ye gwanga esomwa leero.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.     Wetwogerera nga buli kimu kiwedde okutegeka wano mu kisenge ekya Serena International Conference Centre ewali omukolo ogw’okusoma embalirira ye gwanga eyomwaka 2018-2019. Embalirira eno  yeegenda okutandika nga1st  July 2018,nga  egenda kuvugirirwa n’obwesedde 24 nga buvudde wano munda mu gwanga, songa […]

Nambooze akoze statement nebamuyimbula

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya Omubaka owa munisipaali ye Mukono mu Palamenti Betty Nambooze akawungeezi kano akoze statement ku poliisi ye Naggalama mu district ye Mukono oluvanyuma nebauyimbula. Nambooze yakedde kukwatibwa okuva mu maka ge nebamutwala ku poliisi ya Jinja Road mu Kampala, noluvanyuma ate nebamuzza e […]

Bobi Wine ne Winnie Kiiza boogedde ku Nambooze

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Shamim Nateebwa Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palament Winnie Kiiza avumiridde okukwatibwa kwomubaka wa munispaali ye Mukono Betty Nambooze, ngagambye nti kigendererwamu kuwabya kunonyereza ku nfa yabadde omubaka wa munispaali ye Arua Ibrahim Abiriga ne muganda we Saidi Buga Kongo. Bwabadde […]

Nambooze akyagaliddwa

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebauliba Police nokutuusa kati ekyagalidde omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze nga bamutebereza okubeera nakakwate ku kutibwa kw’badde omubaka wa munisipaali ye Arua Ibrahim Abiriga. Nambooze ajiddwa mu maka ge e Mukono, ekiwendo ekikulembedwamu addumira police ye Mukono Rogers Sseguya. Mu kusooka […]