Amawulire

Ebyenfuna bye gwanga by’akukula ku misinde gya bitundu 5.8%.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Samuel ssebuliba ne Kyeyune moses.

Embalirira ye gwanga eyomwaka gwebyensimbi omugya 2018/19 esomeddwa ku Serena Conference Centre mu Kampala.

Mu lutuula olukubirizibwa speaker Rebbecca Kadaga, Minista owebyensimbi Matia Kasija agambye nti ebyenfuna bye gwanga byakukula ku 5.8% mu mwaka gwebyensimbi  2018/19, bwogerageranya ku 3.9% nga bwegubadde mu 2017/18.

Minista omuwanika awadde egwanga esuubi nti wajja kubaawo okukula kwebynfuna nga kwamujjirano, ngensonga nnyingi ezigenda okuseesa mu nkulakulana eno.

Anokoddeyo ebyobulimi, ebyamakolero nebyobusubuzi ngebigenda okulabikiramu enkulakulana.

Agambye nti wabaddewo okukula muba nekolera gyange mu bbanga eriyise mu mwaka gwebyensimbi 2017/18.

Matia Kasijja agambye nti banekolera gyange, bakuze obwesedde 11 nobuwumbi 900 okuva mu March womwaka oguwedde, newabaawo okweyongera kwa bwesedde 12 nobuwumbi 800 nga kikola 7.8%.

Agambye nti eno njawulo yamanyi bwogerageranya 6.1% nga bwegubadde mu mwaka gwebyensimbi oguwedde.

Kino kyalabikidde mu bintu ngokwewola ensimbi ate nokuzizza.

Embalirira ye gwanga eyomwaka gwebyensimbi esomeddwa ya bwesedde 32 nobuwumbi 700 nya yakutandika okukola okuva nga1st July 2018.

Obwesedde 24 bwakuva munda mu gwanga, ate obwesedde 7 bwakuva bunaayira mu bagabirizi b’obuyambi.

Minister wabula alaze okutya nti mu byobulimi wakyaliwo okusomozebwa mu nkola enkadde.

Agambye nti awatali nnima eyomulembeze bingi byandiremwa okutukibwako, nga waliwo obwetaavu okutumbula ennima eyomulembe.

Bwabadde atandika okusoma embiriria ye agambye nti ku mulundi guno essira balitadde ku makolero.

Kasaija agambye nti embeera zabantu balina essuubi nti okuyita mu byamakolero zakulongooka nebitundu 72% mu mwaka gwebyensimbi ogujja.

Mu byenjigiriza minister agambye nti wabaddewo okugenda mu maaso, ngabaana 95.9% aba primary bagenda ku masomero.

Kasaija agambty nti kyenkana buli mwana asobola okufuna essomero, nga libalinaanye mu buwanvu bwa 5KM  ngeno nkulakulana kuba ssi bwegwali.

Abaaana abafuluma amamsomero ga primary ebibalo agambye nti biri ku bukadde 10 nemitwalo 20 buli mwaka.

Yyo ministry yebyenjigiriza nemizannyo bajiwadde obwesedde 2 nobuwumbi 800.

Ate ministry yebyobulamu agambye nti baganede kusimba amannyo ku kutangira endwadde okusinga okuzijanjaba, mu mwaka gwebyensimbi ogugenda okutandika.

Matia Kasaija more agambye ntio bagenda kudda mu bantu okusomesa ku bintu nga endya ennungi, okukuuma obuyonjo nebirara.

Ategezezza nti obwesedde 2 nobukadde 300 zezigenda okutekebwa mu ministary yebyobulamu.

Mungeri yeemu gavumenti yakwongera okutuusa amazzi amayonjo mu bantu okuva ku 71% okutuuka ku 79%, nga kino kigenda kubeera mu byalo.

Atenga mu bibuga agambye nti balubiridde okubunyisa amazzi amayonjo 100%.

Agambye nti ebimu ku byabakoze kwokusaawo ensimbi eziwera akesedde 1 nobuwumbi 300 okutuusa amzzi eri abantu.