Amawulire

Ssabasajja awerezza obubaka obwebaza abasiramu okusiiba.

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Nga  bannaffe abayisiramu balinda bulinzi kulaba okuboneka kw’amezi okusobola okusaala Eid eno, ssabasajja kabaka wa Buganda  bano abawerezza obubaka obubeebaza ekisiibo.

Mububaaka bwe ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alazze obw’enyamivu olw’ebikolwa eby’okuwamba n’okutta abantu ebikula buli kaddde.

On agambye nti  oluvanyuma lw’okufuna obwetwazze wazze wabaawo obutabanguko obw’enjawulo  nga binogerwa edagala,kyoka nga police okulwaawo okusalira embeera ey’ekitta bantu amagezi agamba kyeralikirizza.

Ssabasajja agambye nti kimanyidwa bulungi nti gavumenti ebeera mu buyinza yevunanyizibwa okukuuma abantu n’ebyabwe, kale nga nekuluno government erina okuvaayo ekakanye emitima gyabanna- uganda nga ebatangira okuva eri abatemu abeesomye.