Amawulire

Poliisi erabuddwa ku lyaanyi

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bavumiridde engeri  poliisi gyeyakuttemu abantu ababadde bawakanya  olukiiko olwagobye  loodi meeya  Erias Lukwago. Okusinzira ku mulabirizi eyawumula era mulwanirizi w’eddembe ly’obuntu kayingo Zac Niringiye obukambwe obwakozeseddwa bwabadde tebwetagisa. Abantu ab’enjawulo nga muno mwemwabadde ababaka ba palamenti ne banamateeka baasikiddwa amataayi nga bagezako […]

Loodimeeya waddembe okujulira

Ali Mivule

November 25th, 2013

No comments

Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago akyalina omukisa okujulira ebisaliddwaawo ba kansala okumugoba mu ntebe Ayogerera akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Everlyne Anite agamba nti ekisaliddwaawo ba kansala kiri mu mateeka kyokka ng’amateeka geegamu gawa Lukwago akakisa akwewozaako. Anite agambye nti minista wa kampala ne bakansala […]

Besigye akwatiddwa

Ali Mivule

November 25th, 2013

No comments

Eyaliakulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa. Ono akwatiddwa bw’abadde ali ku poliisi ye Kasangati gy’agenze okukola sitatimenti ku by’obumutulugunya ssabiiti ewedde. Akulira poliisi e Kasangati, y’alagidde abadde ajja ku Besigye statimenti okukikomya kubanga talina buyinza bukikola Ono olumaze poliisi emukasuse mu kamotoka kaayo […]

Abasuubuzi ewa Kisekka beekalakaasa

Ali Mivule

November 25th, 2013

No comments

Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okwekaalakasa nga bawakanya eby’okugoba loodimeeya. Bano bagamba nti tebagenda kukkiriza muntu yenna mulala kubafuga kubanga balonda Erias Lukwago. Poliisi evuddeyo mangu n’ekuba omukka ogubalagala era mu kadde kano akatale kagaddwa Bbo abantu basatu balumiziddwa mu kulwanagana wakati wa poliisi […]

Loodimeeya Erias Lukwago agobeddwa

Ali Mivule

November 25th, 2013

No comments

Erias Lukwago agobeddwa ku bwa loodi meeya. Mu lukiiko lwa bakansala olutudde ku kitebe kya KCCA , ba kansala 29 basazeewo Lukwago agobwe ku bwaloodi meeya. Mu lukiiko olukubiriziddwa minister wa kampala Frank Tumwebaze n’akulira abakozi mu KCCA    Jennifer Musisi, bakansala bano bategezezza nga ddala Lukwago […]

Pulezidenti Museveni akuutidde abavubuka

Ali Mivule

November 23rd, 2013

No comments

  Omukulembeze w’egwanga Yoweri Museveni asabye abaana b’amasomero okwewala ebikolwa eby’obukaba nga bakyali bato. Museveni agamba nti ebikolwa bino biviirideko abaana okufuna embuto nga bakyali bato wamu n’okukwatibwa siriimu ekibavirako okuva mu masomero. Museveni agambye nti abaana balina okweyisa obulungi, olwo basobole okutangaza ebiseera byabwe […]

Loodimeeya Lukwago azize olukiiko lwa Bbalaza

Ali Mivule

November 23rd, 2013

No comments

Loodimeeya w’ekibuga Ssalongo Erias Lukwago ategeezezza nga bw’atagenda kukkiriza kwetaba mu lukiiko olwayitiddwa ku lunaku lwa bbalaza Ng’ayogerera ku kitanda mu ddwaliro lya Nsambya gen Clinic, Lukwgao agambye nti olukiiko lwayitiddwa kupapiriza kulemesa binaava mu kooti ekintu ekikyaamu. Lukwago abadde alina okulabikako mu lukiiko luno […]

Minisita wa kampala ayise olukiiko ku Lukwago

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

Olukiiko olugenda okukubaganya ebirowoozo ku alipoota ayakolebwa ng’esingisa loodimeeya emisango gy’okulemererwa okukola emirimu gye lwa mande Minista wa kampala, Frank Tumwebaze y’ayise olukiiko luno . Tumwebaze atutegeezezza nti mu lukiiko luno, agenda kwanja abiri mu alipoota kansala babeere nga babikubaganyaako ebirowoozo. Tumwebaze agamba nti mu […]

Obubenje bwa piki

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

Abasawo abalongoosa abantu mu ddwaliro ekkulu e Mulago balaze okutya olw’abantu abakubwa obutayimbwa buli lukya okweyongera Akulira abasawo bano, Dr. Michael Muhumuza agamba nti bafuna abantu abali wakati w’abataano n’ekkumi buli lunaku nga bakubiddwa obutayimbwa Dr.Muhumuza agamba nti abasinga baba bakoseddwa nnyo ku mitwe ekikosa […]

Babasalidde ku bibonerezo

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

Richard Arinaitwe nga ono abadde ku gwa kufa awonye akalabba oluvanyuma lwa kkooti okumukendereza ku kibonerezo nga kati wakusibwa mayisa.   Ono nga yali muyizi wa yunivasite ye Makererere  yakkakkana ku bantu 3 n’abatta ate bweyatwalibwa mu kooti n’agwa omulamuzi mu malaka.   Omulamuzi wa […]