Amawulire

Poliisi erabuddwa ku lyaanyi

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

lawyer dragged

Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bavumiridde engeri  poliisi gyeyakuttemu abantu ababadde bawakanya  olukiiko olwagobye  loodi meeya  Erias Lukwago.

Okusinzira ku mulabirizi eyawumula era mulwanirizi w’eddembe ly’obuntu kayingo Zac Niringiye obukambwe obwakozeseddwa bwabadde tebwetagisa.

Abantu ab’enjawulo nga muno mwemwabadde ababaka ba palamenti ne banamateeka baasikiddwa amataayi nga bagezako okuyingira ku kitebe kya KCCA okulemesa olukiiko luno.

Niringiye agamba mu kifo kyokukozesa eryanyi, okuteesa kwandibaddewo.

Munnamateeka wa Lukwago, Abdullah Kiwanuka yakubiddwa mizibu bweyabadde aleese ekiwandiiko okuva mu kooti nga kiyimiriza olukiiko olwagobye loodimeeya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *