Amawulire

Owa NRM awangudde

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Munna NRM  Stephen Kangwagye ye mubaka wa palamenti omuggya owe bukanga. Ono awangudde gwebabadde basinga okuba mu lwokaano, Nathan Byanyima n’obululu 18,204 ate ye Byanyima n’afuna obululu. Eyakulembeddemu okulonda kuno,  Richard Twikirize agamba nti obululu obwafudde bwabadde busoba mu 1200. Omu ku balondodde okulonda kuno okuva […]

Ebibiina ebivuganya byegasse ku Lukwago

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Ebibiina ebivuganya gavumenti byegasse mu kulwanira entebe y’obwa loodimeeya Mu kiwandiiko kyebifulumizza, abakulira ebibiina bino bategeezezza nga bakukozesa amakubo gonna okulaba nti Erias Lukwago adda mu ntebe Abakulembeze bano okubadde, John Ken Lukyamuzi wa CP, Asuman Basalirwa owa Jeema, Olara Otunnu owa UPC ne Gen […]

Abe Bukanga balonze omubaka

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Okubala obululu kutandise e Bukanga awabadde okulonda olunaku lwaleero Abantu beettanidde nnyo okulonda naddala mu biseera by’olweggulo Okulonda kuno kwatataganyeemu ku makya olw’enkuba empitirivu eyatonnye kyokka nga bw’ekedde abantu nebeyunira okulonda Abantu bataano beebasimbyeewo nga kuno kuliko Nathan Byanyima eyesimbyeewo ku bubwe Owa DP Shafique […]

Bannamawulire 3 bakwatiddwa, omu ayimbuddwa

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

  Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire, Mulindwa Mukasa akwatiddwa Ono abadde ku poliisi ye wandegeya gy’abadde agenze okukola amawulire ku bannamawulire abalala ababiri abakwatiddwa nebaggalirwa ku poliisi ye wandegeya Kuno kwekubadde Halima Athumani owa Uganda Radio network  ne omugagga Kamagu owa Top Radio Omugagga Kamagu […]

Ababaka ba palamenti batabuse

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

  Ababaka ba palamenti abava ku ludda oluvuganya gavumenti, abataliiko luuyi n’abagobwa mu NRM basabye bannayuganda obutassa kitiibwa mu by’okugoba loodimeeya. Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano bagambye nti ku lw’okutaano lwa ssabiiti eno, bagenda kuwerekera loodimeeya okudda mu ofiisi ye kubanga agirimu mu mateeka. […]

Abe Kasokoso ssibakusengulwa

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

  Gavumenti eyongedde okukubagana empawa ku nsonga ze Kasokoso Yadde gavumenti yeemu ebadde yakavaayo okutegeeza ng’ababeera e kasokoso bwebaliyo mu bukyaami ate kati minista w’ettaka Daudi Migereko agamba nti abantu bano tebagenda kusengulwa Minista Migereko agamba nti kyebagenda okukola kwekuzimba amayumba ag’ensimbi ensaamusaamu abantu basasula […]

Minista yeddiza emirimu gya loodimeeya

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

  Minisita wa Kampala, Frank Tumwebaze yeddiza emirimu gya loodimeeya. Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti Lukwago takyaali loodimeeya era ng’alagiddwa okuzza ebintu byonna by’abadde akozesa okukola emirimu. Agamba nti bamutegeeza dda ku nsonga eno kyokka nga tannabaddamu. Ba kansala 29 olunaku lwajjo beebasazeewo […]

Embeera mu Kibuga ya bunkenke

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Embeera mu kibuga ya kimpowoooze yadde nga yyo poliisi eri buli wamu. Mu katale ke wa Kisekka, abasuubuzi gyebeekalakasizza olunaku lwajjo ,abasuubuzi bali ku mirimu gyaabwe era nga buli kimu kirungi Omusasi waffe Herbert Zziwa ayiseeko mu katale kano agamba nti abasuubuzi bangi wabula bagamba […]

DP yakugoba ba kansala abagobye Lukwago

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

         Ba kansala ba DP abawagidde eky’okugoba loodimeeya nabo bakugobwa mu kibiina. Ssabawandiisi w’ekibiina kino, Matia Nsubuga agamba nti ekibiina kyalonda Erias Lukwago okukulembera ekibuga era nga oyo yenna eyakiwakanyizza wakuvunaanibwa. Nsubuga agamba nti amateeka g’ekibiina matangaavu ku bantu abavvoola ekibiina nebalwanisa owaabwe era nga […]

Abatooro beekalakaasizza

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Ekibinja ky’abantu okuva mu bukama bwe Tooro olwaleero kizinze kooti etaputa ssemateeka nga kyekalakaasa lw’amawulire agafuluma ku mubejja waabwe gebagamba nti gamulengezza Ekibinja kino kibadde kikutte ebipande ebisaba nti empappula z’amawulire zikome okuwandiisa ebikyaamu ku mumbejja waabwe , bamuwe ekitiibwa kye Bano bagaala gavumenti ekangavvule […]