Amawulire

DP yakugoba ba kansala abagobye Lukwago

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

 

     Dp PC  Ba kansala ba DP abawagidde eky’okugoba loodimeeya nabo bakugobwa mu kibiina.

Ssabawandiisi w’ekibiina kino, Matia Nsubuga agamba nti ekibiina kyalonda Erias Lukwago okukulembera ekibuga era nga oyo yenna eyakiwakanyizza wakuvunaanibwa.

Nsubuga agamba nti amateeka g’ekibiina matangaavu ku bantu abavvoola ekibiina nebalwanisa owaabwe era nga bano baali babalabula dda ku nneyisa y’okulwanyisa Loodimeeya.

Yye omubaka we kalungu mu bugwanjuba, Joseph Ssewungu agamba nti abavuganya bakutuula akadde konna okuteesa ku ky’okukolera ebyavudde mu lukiiko lwa KCCA