Amawulire

Ebibiina ebivuganya byegasse ku Lukwago

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

Lukwago better

Ebibiina ebivuganya gavumenti byegasse mu kulwanira entebe y’obwa loodimeeya

Mu kiwandiiko kyebifulumizza, abakulira ebibiina bino bategeezezza nga bakukozesa amakubo gonna okulaba nti Erias Lukwago adda mu ntebe

Abakulembeze bano okubadde, John Ken Lukyamuzi wa CP, Asuman Basalirwa owa Jeema, Olara Otunnu owa UPC ne Gen Mugisha Muntu owa FDC basabye bannakampala obutaggwaamu maanyi.

Asomye ekiwandiiko kino Gen Mugisha Muntu agambye nti bagenda kukunga n’ebibiina by’obwa nnakyewa okulaba nti obumenyi bw’amateeka bukoma

Yye loodimeeya Erias Lukwago agamba nti essuubi alitadde mu kooti ne bannakampala .

Meeya akubye ku matu era ng’embeera gy’alimu tekyatiisa

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *