Amawulire

Minista Tumwebaze bamutwala

Ali Mivule

December 5th, 2013

No comments

Ababaka ba palamenti abayigga emikono egijja obwesige mu minista Frank Tumwebaze baseetudde Bano bamaze okufuna omukono gw’omuwandiisi wa palamenti nga kati bagenda kutandika kuyigga mikono mu butongole egijjamu minista ono obwesige Bamulanga kulemererwa mirimu n’okuvoola ekiragiro ky’amateeka. Twogeddeko n’omubaka Gerlad Karuhanga ku nteekateeka eno n’ategeeza […]

Ababaka bafunye IPAD

Ali Mivule

December 5th, 2013

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga olwaleero lwebafunye ebyuuma eby’omulembe ebimanyiddwa nga IPAD Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga olwaleero akwatisizza IPAD eziwerera ddala 384 eri bakozi b’amateeka bano Kino bakikoze okukendeeza ku nsimbi ababaka zebassa mu kukubisa ebipappula ababaka byebabadde basoma Kadaga agambye nti IPAD zino […]

Lukwago akubagizza aba Paakayaadi

Ali Mivule

December 5th, 2013

No comments

Omuloodi wa kampala ssalongo Eria Lukwago olwaleero alambuddeko abasuubuzi b’omu park yard. Ono nga ayogerako eri abasuubuzi bano,agambye emiriro egikwata akatale kano , kiviira dala kubula lyakakiiko akategekera ekibuga mukitongole ekya kcca. Lukwago era yebaziza gavumenti olwokuwayo akawumbi eri abasuubuzi abafiriddwa ebyabwe wabula nasaba eyongere […]

Abaana basatu babbidde

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Abaana basatu babbidde . Wetuwandiikidde amawulire gano nga poliisi yakanyululayo mulambo gumu.   Akabenje kano kabadde ku fulaati za akright ku luguudo lwa Entebbe.   Akulira ekitongole ekziinya mooto Joseph Mugis agamba nti abaana bano babadde bagenze kuwuga nebatendewalirwa nebanywa amazzi era tebasobodde kudda ngulu. […]

Obuganda busaasidde aba Paakayaadi

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Obwa Kabaka bwa Buganda busaasidde abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi abafiridwa emaali yabwe mu muliro ogukutte akatale mu kiro ekikeseza olwalero. Katikiro Charles Peter Mayiga wano wasinzidde nasaba polisi okufulumya alipoota ku muliro ogw’emirundi 2, ogwasoka okukwatta akatale kano. Mayiga era asabye okunonyereza okwamangu okukolebwa, […]

Besigye akyaggaliddwa

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akyagaaniddwa okufuluma amaka ge. N’olwaleero poliisi ekyagumbye mu maka ge yadde ng’ate poliisi yeemu yaseetuuse okuva ewa Lukwago. Dr Kiiza Besigye agamba nti abantu bano bamumazeeko emirembe ate ng’alina n’okukola emirimu gye okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Ababaka […]

Gavumenti ewaddeyo akawumbi eri aba paakayaadi

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Gavumenti ewaddeyo akawumbi kamu okuddukirira abasuubuzi ba paakayaadi abafiiriddwa emmaali yaabwe Obubaka buno bwetikkiddwa minisita akola ku by’owkerinda, Dr Crispus Kiyonga bw’abadde akyaddeko mu katale. Kiyonga agambye nti ensimbi zino zakuweebwa abasuubuzi nga ziyita mu bakulembeze baabwe okuziyiza okulwana kwonna. Kiyonga agamba nti gavumenti yakutuula […]

Ababaka beekalakaasa

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Buli Muntu kati yekalakaasa nga n’ababaka ba palamenti nabo tebalutumidde mwana olw’obutaba nawebasimba mmotoka zaabwe. Bano basazeewo kwekalakaasa nga bawakanya eky’obutaba nawebasimba mmotoka. Ababaka okuli  Steven Ochola ,  Roland Mugume n’abalala bakooye okweva obusente bwaabwe nga basasula ew’okusimba emmotoka zaabwe sso nga presidenti Museveni yaggulawo […]

81 bakoseddwa ku paakayaadi

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Ekibiina ekiddukirize ekya Redcross kigamba nti kikoze ku bantu 81 Omwogezi w’ekibiina kino Catherine Ntabadde agamba nti 28 babongeddeyo mu ddwaliro e Mulago  ate 53 bbo babadde bazirise lwa tiyagaasi nga bateredde Ntabadde agambye nti abantu bano babadde n’ebiwundu by’amasasi, ebiwundu by’amayinja, okuzirika n’ababadde bazimbye […]

Akatale ka Paaka yaadi kakutte omuliro

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Omuliro guzzeemu okukwata akatale ka paakayaadi . Omuliro guno gutandise nga ku ssaawa kkumi ku makya . Poliisi enziinya mooto etuuse mu kitundu kyokka nga tewabaddeewo kyakutaasa. Abasuubuzi abalabiddwaako nga bakuba emiranga beewunise ate abalala balwana kulaba nga bataasa akatono akasigalidde Yyo poliisi ekubye omukka […]