Amawulire

Ababaka bafunye IPAD

Ali Mivule

December 5th, 2013

No comments

Ipads

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga olwaleero lwebafunye ebyuuma eby’omulembe ebimanyiddwa nga IPAD

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga olwaleero akwatisizza IPAD eziwerera ddala 384 eri bakozi b’amateeka bano

Kino bakikoze okukendeeza ku nsimbi ababaka zebassa mu kukubisa ebipappula ababaka byebabadde basoma

Kadaga agambye nti IPAD zino baziguze obukadde 976 era nga zakuyamba n’abakaka okumala ebbanga nga bateesa ku byebatategeera kubanga kati bakuteesanga.

Buli I pad ebalirirwaamu obukadde bubiri n’ekitundu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *