Amawulire

81 bakoseddwa ku paakayaadi

Ali Mivule

December 4th, 2013

No comments

Redcross responds

Ekibiina ekiddukirize ekya Redcross kigamba nti kikoze ku bantu 81

Omwogezi w’ekibiina kino Catherine Ntabadde agamba nti 28 babongeddeyo mu ddwaliro e Mulago  ate 53 bbo babadde bazirise lwa tiyagaasi nga bateredde

Ntabadde agambye nti abantu bano babadde n’ebiwundu by’amasasi, ebiwundu by’amayinja, okuzirika n’ababadde bazimbye omubiri

E Mulago abantu mukaaga beebali ku bitanda oluvanyuma lw’okukubwa amasasi g’ebipiira ne ttiyagaasi

Mu baano kuliko Abel Ssali omutuuze we Kireka ng’abadde atunda ngato mu katale ,kano wamu nabalala abadde bakyali mumbeera embi nga mulimu nomukyala gwebakubye essasi ku kabina

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *