Amawulire

Ababaka ba palamenti batabuse

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

 Mps opposed

Ababaka ba palamenti abava ku ludda oluvuganya gavumenti, abataliiko luuyi n’abagobwa mu NRM basabye bannayuganda obutassa kitiibwa mu by’okugoba loodimeeya.

Nga boogerako eri bannamawulire, ababaka bano bagambye nti ku lw’okutaano lwa ssabiiti eno, bagenda kuwerekera loodimeeya okudda mu ofiisi ye kubanga agirimu mu mateeka.

Nampala w’abavuganya omubaka Winifred Kiiza agamba nti olukiiko olwagobye Lukwago lumenya mateeka era nga ebyaluvuddemu bikyaamu Ababaka bano kubaddeko Mathias Mpuuga, Alice Alaso FDC, Dr Lulume Bayiga, Paul Mwiru Rev Jacinto Ogwal Betty Nambooze, Theodore Sekikubo ne Barnabas Tinkasimire.

Bano bagamba nti nebagenda kukkiriza muntu yenna kumenya seemateeka Bino bizze nga minista frank Tumwebaze yakamla okweddiza emirimu gya loodimeeya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *