Amawulire

Embeera mu Kibuga ya bunkenke

Ali Mivule

November 26th, 2013

No comments

deployment

Embeera mu kibuga ya kimpowoooze yadde nga yyo poliisi eri buli wamu.

Mu katale ke wa Kisekka, abasuubuzi gyebeekalakasizza olunaku lwajjo ,abasuubuzi bali ku mirimu gyaabwe era nga buli kimu kirungi

Omusasi waffe Herbert Zziwa ayiseeko mu katale kano agamba nti abasuubuzi bangi wabula bagamba nti ssibasnayufu nti omuntu wgebelondera yamamuddwa ku ntebe

Okuddako ku kitebe kya KCCA mu kampala, embeera era ezze mu nteeko nga tewali miziziko gyonna eri abayingira oba abafuluma nga mwekyabadde.

Wabula yyo ofiisi ya Loodimeeya akyaali nzigale.

Olunaku lwaleero era ne Dr Kiiza Besigye poliisi ekedde mukuzzaayo mu maka ge e Kasangati oluvanyuma lw’okumuggalira e Naggalama okumala olunaku lulamba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *