Oluvanyuma lwabayimbi okwongera okwekubira enduulu olwobutafuna mu music wabwe olwabasala enyimba zabwe, ekitongole ekikola ku kuwandiisa bizinensi wano mu ggwanga kitegezezza nga bwekigenda okuteekawo ekitongole kya poliisi ekyokukwata abo bonna abooza mu nyimba z’abayimbi bano.
Akuliramu okuwandiisa mu kitongole kino BemanyaTwebaze agamba poliisi yakulondoola abasala mu nyimba zino.
Amaaso egenda kugasimba ku basala CD abazisasanya eri abaguzi…
Poliisi ezzeemu okukwata eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodimeeya Erias Lukwago
Bano babadde bayimbuddwa kooti oluvanyuma lw’okuggulwaako emisnago gy’okukuma mu bantu omuliro
Bano babakutte batuuka ku kkanisa ya KPC era poliisi n'ebazingako oluvanyuma lw'okukuba omukka ogubalagala
Wabula bano nga bakava mu kkomera baweze nga bwekitandika obutandise nga bakusigala nga balwanirira eddembe lyaabwe
Bbo bannamateeka baabwe…
Ministry y’eby'ettaka erabudde abatuuze ku ttaka lino okugondera etteeka okusinga okukozesa eryanyi olwenkaayana ezigenda maaso ku ttaka lino.
Ettaka lino eririko obwagagavu bwa yiika 292.7 lizze likayaanirwa abatuuze n'ekitongole kya National Housing corporation.
Minister omubeezi ow’ebyettaka Sam Engola agamba ettaka lino abatuuze lyebakayanira lya kitongole kino ekya National Housing, wabula olw'okulwaawo okulikulakulanya , abantu bagenda balyesenzaako mpola…
Abavubuka b’ekiwayi kya Uganda young democrats bavumiridde engeri Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago gyebakwatiddwamu,nebatuuka n'okubeera mu makomera nga tebamanyi misango gibavunaanwa.
Bw'abadde ayogerako eri bannamawulire ,ssabawandiisi wekibiina kino , Charles Wasswa agambye nti kino kyabadde tekyetagisa kubanga abakulembeze bano tebaakoze ffujjo lyonna nga bakwatibwa.
Ono agamba nti nate bagenda kutandika ku kwefube ow'okunoonya emikono egigoba ba…
Akulira abakozi mu kibuga Kamapala Jennifer Musisi agamba okulonda kwa bakansala okuva mu bitongole ebikugu kubadde kukandaliridde nyo nga ate bamugaso nyo mu kuddukunya emirimu mu kibuga.
Bw'abadde mu kulayiza abana abalondeddwa , Musisi agambye nti bano bakuyamba mu kuddabulula ekibuga kampala ekibadde kikyaddiridde bw'ogeregeranya n’ebibuga ebirala.
Wabula bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti bategeezezza nga ba kansala bano…
Palamenti egobye alipoota eyakolebwa okuva mu kunonyereza ku nsonga za KCCA
Kiddiridde ababaka abatuula ku kakiiko akanonyereza okwegaana ebyaali mu alipoota nga bisingisa loodimeeya omuasngo
Akulira akakiiko Steven Baka agambye nti ba memba abasinga beegana ebyaali bissiddwa mu alipoota.
Baka agambye nti alipoota eno yawandiikibwa mu ofiisi y’akulira akakiiko era n’asaba nti ababaka Florence Kintu ne Raphael Magyezi…
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’amateeka bawakanyizza eby’okusengula ekkomera lye Luzira
Akulira amakomero Johnson Byabashaija olwaleero alabiseeko mu palamenti n’ategeeza nga bwebalina enteekateeka ezimba ekkomera eddala ettaka lye Luzira baliwe bamusiga nsigo
Ababaka okubadde Betty Nambooze, Reagan Okumu ne Alice Alaso bagamba nti kano kakodyo ka baggagga kutwala ttaka lya makomera
Bano bagamba nti…
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi ow’okubiri akunze abaganda okubeera obumu n’okukoma okwerumaruma.
Obubaka bwe bumwetikkiddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’okusonda ensimbi z’amasiro ezisobye mu bukadde 50
Mu bubaka bwe Katikkiro asabye bannabugerere okunywerera ku mutanda, n’okukola ennyo.
Alayidde okufafaagana n’omuntu aneekiika mu nteekateeka za Buganda ez’enkulakulana.
Okusonda ensimbi z’amasiro e Bugerere kubadde kwa bbugumu nga…
Eyali akulira ekitongole ekikessi mu ggwanga Gen David Sejusa agobwa mu palamenti
Akakiiko akakola ku mateeka ga palamenti akaweebwa omulimu okunpnyereza ku neeyisa ya Sejusa keekasazeewo nti ekifo ky’ono kirangirirwe nti kikalu
Akulira akakiiko kano, Fox Odoi agambye nti bafubye okunoonya Sejjusa okulaba nti yewozaako ku misango gy’obutakola mirimu gye mu palamenti kyokka nga tebasobodde
Odoi era agambye…
Poliisi yakussaawo ekiwayi eky’enjawulo nga kikola ku basajja abatulugunyizibwa bakyala baabwe
Kino kiddiridde emisango gy’abakyala okutulugunya ba baabwe okweyongera.
Bino Gen Kaihura y’abyogedde bw’abadde asisinkanye abakulu mu poliisi
Kaihura agamba nti abakyala bagasse n’abaana okutulugunya abasajja