Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje omwafiiridde omukyala w’olubuto.
Omwami yeeyabadde addusa mukyala we mu ddwaliro ng’olubuto lumuluma kyokka piki kwebabadde n’ekola akabenje omukyala n’afiirawo.
Fred Kalule y’abadde atwala Shamim Nalubega kati omugenzi okuzaala mu ddwaliro lye Rubaga wabula tasobodde kutuuka oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje.
Akabenje kano kabadde Nakulabye.
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga agamba nti musanyufu nti enkolagana wakati wa Buganda ne gavumenti buli lukya eyongera okutereera
Bino abyogedde asisinkanyeemu kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akyaddeko ku palamenti olunaku lwaleero.
Ono agambye nti era musanyufu nti Kamalabyonna Mayiga ataddewo enkolagana ennungamu wakati wa palamenti n’obuganda ekitabangawo
Amusabye okwongera okukolerera obumu kubanga bwebwokka obugenda okutwala…
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kabuyonjo abantu bangi okwetoolola ensi n’okutuusa kati tebamanyi mugaso gwa kabuyonjo.
Ekibiina ky'amawanga amagatte kitegezezza ng'abantu abasoba mu bukadde 2 mu nsi yonna bwebatalina kabuyonjo nga kino kiviriddeko bangi okufa endwadde eziva ku bukyaafu sso nga zisobola okwewalika.
Sabawandiisi w’ekibiina ky'amawanga amagatte Ban Ki Moon agamba wakyaliwo obulombolombo…
Omusumba William Muwanguzi abangi gwebamanyi nga Kiwedde azzeemu okukwatibwa
Ono abadde agezaako kutoloka okuva mu kkomera lye Kalisiizo gyeyaggalirwa
Muwanguzi yakwatibwa ssabiiti ewedde bweyasangibwa nga yeeyita omufaaza era ng’atuuzizza abantu mu kitambiro ky’emmisa era n’aggulwaako emisango gy’okweyita ky’atali
Muwanguzi addiziddwaawo mu kkomera.
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.
Besigye akimazeeko buli omu bw'akubye poliisi ekimmooni n'alabikako wakati mu kibuga nga teri amusuubira
Ono atuukidde mu kikuubo gy'avudde n'agenda ku mini-price mu kampala era wano poliisi poliisi webagibagulizzaako omukka ogubalagala negukaawa
Besigye akwatiddwa n'atwalibwa ku poliisi ya CPS gy'aggaliddwa.
Mu ngeri yeemu, ne loodimeeya Erias Lukwago akwatiddwa bw'abadde yakafuluma…
Ababaka ba palamenti okuva mu bitundu ebirala beegasse ku banaabwe okuva mu kampala okuwakanya ebiri mu alipoota eyakolebwa ng’evunaana loodimeeya Erias Lukwago ogw’obutakola bulungi mirimu gye.
Ababaka okubadde Mariam Nalubega, Wilfred Nuwagaba, Thoedre Ssekikubo, Abdu Katuntu ne Joseph Ssewungu bagamba nti tebagenda kutuula nga balaba ssemateeka ayisibwaamu olugaayu
Bano bagamba nti bannakampala beerondera omuntu waabwe era teri…
Gavumenti ewereddwa amagezi okwewala okweyingiza mu mirimu gya banamawulire nga bategeeza eggwanga ekigenda maaso.
Kino kiddiridde RDC wa Kampala Mpimbaza Hashaka okuwandikira emikutu gya Radio 2 nga agirabula obutaddamu kukyaaza baludda luvuganya gavumenti bokka nga ayagala na b'oludda lwa gavumenti baweebwe omukisa
Wabula ekibiina ekirwanirira eddembe lya banamawulire ekya Human Rights Network for Journalists kigamba nti kino…
Poliisi webuzibidde ng’ekutte abantu 11
Bano beebamu ku babadde beekalakaasa nga bawakanya alipoota eyakolebwa ng’esingisa Loodimeeya Erias Lukwago omusango gw’obutakola bulungi mirimu gye
Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti munaana ku bano baggaliddwa mu kampala ate abalala abasatu bali Naggalama.
Abavuganya basiibye beezooba ne poliisi nga bagala kukuba lukungaana ku Nakivubo settlement pulayimale…
Okulonda abakiise b’ebitongole by’abakugu nakwo kukubye koodi nga buli kimu kiwedde
Bano abawerera ddala bana bagenda kulondebwa olunaku lw'enkya okutuuka ku lukiiko lwa KCCA olwo lube nga lujjuvu bulungi era nga ssinga lutuula luba lusobola okugoba loodimeeya
Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti okulonda kuno kugenda kuyita mu kkolegi ng’abantu 12 beebakajjayo foomu okwewandiisa.
Mu bibiina…
Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo kyaddaaki basazizzaamu akeediimo kaabwe.
Kino kiddiridde olukungaana wakati w'abasomesa bano ne minista omubeezi akola ku matendekero aga waggulu John Crizistom Muyingo .
Gavumenti okusooka yategeezezza nga bweyabadde agenda okuggalawo ettendekero lino saako n'okukangavvula abasomesa bonnaa abapika banaabwe obutadda mu bibiina.
Bano babadde bawakanya eky’amyuuka chansala w’ettendekero lino Prof Isiah Omolo Ndiege okukomawo ku ttendekero…