Loodimeeya w'ekibuga kampala, Salongo Erias Lukwago akwatiddwa.
Lukwago abamukutte yakafuluma amaka ge e Wakaliga agakedde okwebulungulwa poliisi.
Lukwago atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama.
Poliisi era ekutte akulira abakyala ba FDC Ingrid Turinawe abadde atuuse ku Nakivubo settlement awategekeddwa olukiiko.
Wano abawera bakwatiddwa poliisi n'ebaggalira
Ne mu division ye Makindye ku kyaalo Masajja bwegubadde nga nayo era poliisi ekozesezza omukka ogubagala…
Poliisi esazeeko ababaka okuli Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire, Joseph Sewungu, ne Theodore Sekikubo nga bano babadde mu katale ke wa kisekka.
Ababaka bano babadde bagenze kukyalira basuubuzi mu kaseera nga beekalakaasa nga bawakanya eby'okusindikiriza loodimeeya Erias Lukwago
Ababaka bano okuvanyuma baddukidde mu kifo kya little flowers kyokka ng'eno nayo poliisi ebetoolodde era obwedda abagoberera okutuukira ddala ku…
Ebya Lord Mayor, Erias Lukwago bibi.
Akakiiko akabadde kawuliriza okwemulugunya kwaba kansala 17 nga baagala Lukwago agobwe mu ofiisi ye nti emirimu gimulemye kamusingisizza emisango.
Mu gimu ku misango egisingisiddwa Loodi Mayor mwemuli ogw'okulemererwa okutuuza enkiiko za ba ansala ng'mateeka bwegalagira.
Minister wa Kampala Frank Tumwebaza ategeeezza nga bw'agendaokuyita olukiiko lwaba kansala abatula ku lukiiko lwa KCCA mu…
Abasomesa okwetwoloola eggwanga lyonna nate bategeezeza nga bwebagenda okuddamu okuteeka wansi ebikola, singa gavumenti tebanguyize musaala gwaabwe.
Ssabawandiisi w'ekibiina ekibagatta James Tweheyo agambye nti gavumenti kirabika nga ebazanyira ku bwongo , anti nabuli kati ekyagaanyi okutuukiriza byebakiriziganyaako nga bakomya akeediimo kaabwe.
Ono agamba nti baali bakkiriziganya nti abasomesa baweebwe omusaala gwaabwe mu nnaku 28 zokka, wabula nakati…
Eyaliko Ssenkagale wa FDC Col Dr. Kiiza Besigye ategeezezza nga bw'atali mwetegefu kuddamu kwesimbawo kubwa pulezidenti mu mwaka 2016, singa amateeka agafuga okulonda tegakyuukamu.
Kinajjukirwa nti Besigye yaakegeza ku ntebe y’obukulembeze kaakano enfunda 3 namba, wabula ng'akubwa kyabugazi, newankubade nga abadde addukira mu kooti okuwakanya ebivudde mu kulonda .
Kati Besigye atugambye nti okulonda kwonna tekulina makulu…
Kooti enkulu eriko omusajja owe myaka 30 gw'ekalize emyaka 18, nga ono emulanga kubba bodaboda.
Godwin Kanyaanya owe Namuwongo alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alividza ,akakasizza nti yabba piki ya Simon Kalaharo.
Omusango guno kigambibwa ni yaguzza ng'ennaku z'omwezi 15 , omwezi gw'okubiri mu mwak aoguwedde nga piki eno nno yagikukunula mu kifo weyali esimbiddwa…
Abasuubuzi abakolera mu katale ka Usafi empooza ya buli mwezi ebazitoweredde nga abamu bagaala kwabuulira katale kano.
Abasinga ku bakolera mu katale kano beebasuubuzi abali ku nguudo wabula nga kati ebintu bibasobodde olw'empooza egaanye nga ate abaguzi ba lubatu mu katale kano.
Abasuubuzi bano basasula empooza ya mitwaalo munaana omwezi,okwo kw'ossa amazzi n'amasanyalaze.
Wabula ye omwogezi w’akatale kano …
Akulira abakozi mu kampala, Jeniffer Musisi ategezezza nga okulamba siteegi za bodaboda bwekugenda okukolebwa omwaka ogujja.
Ekitongole kya KCCA kyakukwatagana n’ebitongole ebikola ku by'okwerinda, saako n'abakiikirira abavuzi ba bodaboda okumaliriza enteekateka eno okwetoolola ekibuga.
Oluvanyuma bakutandika kawefube w'okubunyisa zi kabuuti eri abavuzi bano, ebikoofira by'okumutwe ziyite helmet saako n'okubateerawo ebisikirize ku siteegi zabwe.
Abagoba ba bodaboda abasoba mu…
Abayizi ba siniya ey'omukaaga abasoba mu mitwalo 11 olwaleero a batandise ebigezo byaabwe eby'akamalirizo mu masomero agasoba mu 1000.
Bano batandise n’ekigezo ky’ebyenfuna ekya Economics paper 1 ate olweggulo bakole paper 2.
Sentebe w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya Uganda National exnationas board Fagil Mande agamba nti beteeseteese bulungi mu buli kimu nga nebakalabalaba b’ebigezo bano babayungudde dda…
Poliisi ezzeemu okulabula bannayuganda ku batujju
Senkaggale wa poliisi, Gen Kale Kaihura agamba nti afunye amawulire nti abatujju bagaala kulumba Garden city oba Nakumatt mu kampala.
Kaihura agambye nti bakyagenda mu maaso n’okwetegereza amawulire gano kyokka era n’asaba abantu okubeera abegendereza ennyo
N’ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bayisizza okulabula abakozi baabwe nga babagaana okuyita mu bifo bino mu nnaku zino.
Amyuka…