Amawulire

Babasalidde ku bibonerezo

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

highcourt

Richard Arinaitwe nga ono abadde ku gwa kufa awonye akalabba oluvanyuma lwa kkooti okumukendereza ku kibonerezo nga kati wakusibwa mayisa.

 

Ono nga yali muyizi wa yunivasite ye Makererere  yakkakkana ku bantu 3 n’abatta ate bweyatwalibwa mu kooti n’agwa omulamuzi mu malaka.

 

Omulamuzi wa kooti enkulu Joseph Mulangira ategezezza nti yadde nga Alinaitwe talaze kwetowaza kwonna bukyanga akwatibwa, alaze nti takyali nyo wabulabe eri basibe banne.

 

 

Ono yoomu ku basibe 72 abali ku gw’okufa abaleetebwa mu kooti wiiki ewedde emisango gyaabwe giddemu okuwulirwa okusobola okukenderezebwa ku kibonerezo.

 

Kino kiddiridde kooti ensukulumu okulagira nti buli omu abadde ku kalabba okusukka emyaka 3 nga tanawakibwa ku kalabba akomezebwewo ekibonerezo kye kikendezebwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *