Amawulire

Loodimeeya waddembe okujulira

Ali Mivule

November 25th, 2013

No comments

Lukwago at bsambya gene

Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago akyalina omukisa okujulira ebisaliddwaawo ba kansala okumugoba mu ntebe

Ayogerera akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti Everlyne Anite agamba nti ekisaliddwaawo ba kansala kiri mu mateeka kyokka ng’amateeka geegamu gawa Lukwago akakisa akwewozaako.

Anite agambye nti minista wa kampala ne bakansala babadde bagoberera mateeka era nga tebalina kikyaamu kyebakoze

Ono agamba nti buli omu alina okussa ekitiibwa mu birowoozo bya munne nga oyo ye Demokulasiya owe kimmemmette

Ba kansala 29 beebalonze nga bawagira eky’okugoba Loodimeeya Erias Lukwago ku ba kansala 34 abakola olukiiko lwa KCCA

Olukiiko luno lukubiriziddwa minista wa kampala Frank Tumwebaze n’akulira abakozi Jennifer Musisi