Amawulire

Kaihura afunye ekisanja ekirala

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura ayongeddwa ekisanja kya myaka ena Kiddiridde okukakasibwa palamenti olunaku lwaleero. Asuubizza okukyuusa ekifananyi kya poliisi n’enkolagana yaakyo n’abantu. Bino Kaihura abyogedde yakava mu kakiiko ka palamenti akasunsula abo abalondeddwa pulezidenti Museveni okukola emirimu egitali gimu. Ono yegaanye okubaamu kyekuubira […]

Abayizi beecaaye nebekalakaasa

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abayizi ku ttendekero lye Makerere eryebyobusuubuzi erya Makerere University Business School beekalakaasizza nga bawakanya eky’okuwera kkoosi ezimu Kiddiridde akakiiko ka gavumenti akabadde kanonyereza ku koosi eno okuzuula nti nyingi za bikwangala Abayizi bano bagaala ab’ettendekero bakakase koosi ki ezirugenda era betegeke Bino bizze nga n’abayizi […]

Bugana ssiyakusengula muntu yenna

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga awakanyizza nti Buganda erina enteekateeka ezisengula abo bonna bali ku ttaka lyaayo Katikkiro era agamba nti teri Muntu ali ku kizimbe kya Buganda agenda kugobwa Bino kamalabyonna abyogedde akwasibwa essaza lye Buddu e Masaka eryawambibwa gavumenti ya Apolo […]

Ababaka baanirizza Byarugaba ku NSSF

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti awatali kwetemamu baniirizza eky’okulondebwa kwa Richard Byarugaba  okukulira ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya NSSF Byarugaba yawereddwa emyaka esatu ng’akulira NSSF oluvanyuma lwa kumpi mwaka mulamba ng’ekitongole kino kinoonya omukulembeze omuggya Ababaka okubadde Alex Byarugaba,Tim Lwanga, Flavia Kabahenda ne Medard Ssegona bategeezezza nga […]

Lufula KCCA egitwale

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Minisita omubeezi akola ku by’okulondoola ebyenfuna alagidde ekitongole kya KCCa okweddiza lufula y’eggwanga esangibwa ku luguudo lwa Portbell road. Henry Banyenzaki nga mu kadde kano era ye minisita wa kampala asabye KCCA okutandika okuwooza abakinjaaji bano embagirawo. Ekiragiro kino kiggyidde mu kaseera nga waliwo okusika […]

Owa Nigeria wakuddamu okwesimbawo

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Nigeria  Goodluck Jonathan akakasizza nga bwagenda okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti omwaka ogujja mu mwezi 2. Wabula ono ayolekedde olusozi gambalagala olw’okukolokotebwa okulemererwa okulwanyisa abakambwe ba Boko haram nga bano baawamba abawala 200 gyebuvuddeko. Abajambula bano beddiza kumpi ekitundu kya Mubi kyonna mu […]

Kaihura ali ku minzaani

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen Kale Kaihura atuuse mu palamenti okukakasibwa ku kifo kino. Pulezidenti Museveni yayongera Kaihura ekisanja ekirala kyamyaka 4 nga era kati ababaka abatuula ku kakiiko akakakasa abalondeddwa pulezidenti bali mu kumusoya bibuuzo nga bakulembeddwamu sipiika Rebecca Kadaga. Omulundi ogwasemba Kayihura okulabikako maaso g’akakiiko […]

Ab’omu kikuubo becanze

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu Kikuubo bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’ababakulira aba Kikuubo Business community okubasaba omutwalo ogwa kasasiro buli mwezi. Abasuubuzi bagamba nti ensimbi zebamanyi ziri kakaaga ng’ababatwala bagaala kubakolamu nsimbi. Bano nno ensonga bazitwalako ne mu kkooti kyokka n’abasaba bateese n’abakikuubo Business community bwebigaana baddeyo

Kamuswaga abanja

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Kamuswaga we  Kooki Apollo Ssansa Kabumbuli akubye gavumenti mu mbuga z’amateeka nga ayagala kuliyirirwa obuwumbi 70 nga alumiriza nga bwebaawamba ettakalye. Ettaka erogerwako lisangibwa  Mutundwe ne Nabingo nga kigambibwa nti lyawambibwa gavumenti mu 1966. Nga ayita mu bannamateekabe aba  Bashasha and company advocates, Kamuswaga agamba […]

Museveni akungubagidde owe Zambia

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni akungubagidde omukulembeze w’eggwanga lya Zambia efudde enkya ya leero. Michael Sata ow’emyaka 77 afiiridde mu ggwanga lya Bungereza gy’abadde ajjanjabibwa obulwadde obutannaba kwatuulwa Amyuka omukulembeze w’eggwanga , omuzungu Guy Scott kati ye mukulembeze ow’ekiseera ng’eggwanga lyetegekera omukufuna omukulembeze omuggya mu nnaku kyenda Scott […]