Amawulire

Ab’e Kabula balindirira Ssabasajja

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

    Enteekateeka z’okukuza olunaku lwa bulungi bwansi ziri mu ggiya nnene mu ssaza lya ssbasajja e Kabula. Omwami wa ssabasajja mu ssaza lino  Francis Mugumya Ntambazi kati kawefube w’okukunga  abantu amututte nju ku nju buli Muntu agweyo ku lunaku olwo. Lumama Ntambazi ategezeza nga […]

Embwa esitula omwenge

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abagaazi b’omwenge gyebali nga bbo bayiiya engeri yonna gyebayinza okugufunamu ate nga tebatawaanye Kati mu Australia, omusajja ayigirizza embwa ye engeri y’okumuwereeza omwenge okuva mu firiigi Josh embwa eno agiyigirizza nga buli lw’ayogera nti awulira enyonta, ng’embwa eno edduka eggulawo firiigi, n’ejjayo eccupa ya bbiya […]

Gavumenti ya Burkina Faso bagitwala- abantu bakoowu

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Ekiri mu ggwanga lya Burkina Faso, ebintu bitabuse ng’abeekalakaasi balumbye palamenti nebagitekeera omuliro nga bawakanya eky’okwongezaayo ekisanka ky’omukulembeze ali mu ntebe. Omukulembeze ono Blaise Kampore amaze mu buyinza emyaka 27 ng’abadde ayagala yeeyongezeeyo ekisanja Mu kibuga ekikulu eky’eggwanga lya Burkina Faso, ekitebe ky’ekibuga kitekeeddwa omuliro,kko […]

Abakyala mweyambe- Namwandu wa Mandela

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abakyala ab’amaanyi mu ggwanga basaanye okukwata ku banaabwe abali obubi ku mikono Omulanga guvudde eri eyali muka Nelson Mandela Gracia Machel bw’abadde asisinkanye abatendekebwa ku biyinza okuvaamue nsimbi e Kyebando Kawempe Machel agambye nti abakyala batono abalina ssente enyingi era nga bali mu gafo naye […]

Luzinda bamukutte lwa bbanja- Amaze n’asasula

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Omuyimbi  Desire Luzinda kyaddaaki ayimbuddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa olw’ebbanja Luzinda akwatidwa bawanyondo ba Kkooti lwa bbanja lya bukadde 21 Ajjiddwa mu maka ge e Wandegeya wanyondo wa kkooti ategerekese nga Moses Mutesasira. Luzinda ayimbuddwa oluvanyuma lw’okusasulako obukadde 10 ng’obusigadde 11 alina okubusasula obutasukka nga 30 omwezi […]

Amata ganafuya amagumba

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Okunywa ennyo amata tekikendeeza ku bulabe bw’omuntu okunafuwa amagumba Okunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya Sweden kulaga nti abakyala abanywa giraasi z’amata olunaku ate bali na mu bulabe bw’okunafuwa amagumba okusinga kw’abo abataganywa. Abanonyereza bano bagamba nti basalawo okunonyereza ku nsonga eno okukakasiza ddala oba amata […]

Kkooti ezijulirwaamu endal zijja- Otafire

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Gavumenti yakussaawo kkooti ejulirwaamu mu byaalo okuyamba abantu okufuna obwenkanya Minisita akola ku nsonga z’amateeka Gen Kahinda Otafire agamba nti mu kadde kano ebyaalo tebiriina kkooti zijulirwaamu kale nga bangi nebwebatamatira tebajulira Otafire agamba nti ekigendererwa kyaabwe kyakulaba nti batuuka mu bitundu 59 ku kikumi  […]

Aba Taxi baggaliddwa

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi abawerera ddala bataano basindikiddwa ku mere e Luzira lwakutikkira mu bifo bikyaamu. Balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende oluvanyuma lw’okwegaana emisango. Egibavunaanibwa gya kweyisa mu ngeri embi nga bayita n’okutikkira abasabaaze mu bifo ebikyaamu Okusinzira ku  ludda  […]

Ogwa Godi gwa December

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Kkooti y’okuntikko mu ggwanga etaddewo olunaku lwa nga lumu December okuwulira okujulira okwakolebwa omubaka Akbar Godi ku by’okusingisibwa omusango gw’okutta mukyala. Godi yaweebwa ekibonerezo kya myaka 25 lwakutta mukyala we Rehma Ceasar Godi aawakanya ekibonerezo ekyamuweebwa n’okusingisibwa omusango. Godi yaddukira mu kooti ejulirwaamu eyalemezaawo ekibonerezo […]

Ogwa Kananura nate gwongezeddwaayo

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

KKooti e Nakawa ezzeemu okwongezaayo omusango oguvunaanibwa omugagga Desh Kananura agambibwa okutta omukozi we Omusango guno kati gwakuwulirwa nga mukaaga omwezi ogujja okusobozesa bannamateeka ba Kananura okufuna obujulizi bwonna bwebetaaga okuwolereza omuntu waabwe. Omulamuzi Wilson Masulu Musene alabiseeko mu kkooti kyokka nga bannamateeka ba Kananura […]