Amawulire

Ogwa Kananura nate gwongezeddwaayo

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Desh Kananura

KKooti e Nakawa ezzeemu okwongezaayo omusango oguvunaanibwa omugagga Desh Kananura agambibwa okutta omukozi we

Omusango guno kati gwakuwulirwa nga mukaaga omwezi ogujja okusobozesa bannamateeka ba Kananura okufuna obujulizi bwonna bwebetaaga okuwolereza omuntu waabwe.

Omulamuzi Wilson Masulu Musene alabiseeko mu kkooti kyokka nga bannamateeka ba Kananura abakulembeddwaamu Geoffrey Kandeebe bamutegeezezza nga bwebabadde tebannamaliriza kunonyereza kwaabwe nebasaba obudde

Kananura avunaanibwa gwa kutta badru Kateregga eyali omukozi we ng’amulanga kukkiriza nsimbi ezamuweebwa kasitoma eyali akyadde mu bbaala yaabwe