Amawulire

Kashaka azzeemu okusaba afulume

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Eyali omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu John Muhanguzi Kashaka azzemu okusaba kkooti emukirize okweyimirirwa bwekiba kisoboka ajulire nga ava bweeru wa kaduukulu. Ono kati awakanya eky’omulamuzi okumugaana okweyimirirwa nga okujulira kwe bwekukyawulirwa. Kashaka ne banne abalala 4 baali baasaba okweyimirirwa ,wabula omulamuzi  Solomy […]

Omusawo eyajjamu omukazi olubuto atuyaana

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Ssabawaabi wa gavumenti alagidde nti omusawo eyajjamu omukyala olubuto amale amutte avunaanibwe. Kino kibaddewo yadde bannamateeka b’omusawo ono Dr Moses Muhwezi bafubye okuwakanya eky’okuvunaana omuntu waabwe Dr. Muhwezi  emisango yagizza kati emyezi mukaaga emabega. Ab’enganda z’omugenzi nno nabo babadde tebagaala musawo ono avunaanibwe kyokka nga […]

Abaasaba emirimu gibabuze

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu 400 abasaaba emirimu mu KCCA tebagifunanga kati emyaka ebiri Abasinga ku baasaba emirimu gino bakola ne yintavuyu , nebakakasibwa ne minisitule ekola ku nsonga z’abakozi nga bafuna amabaluwa mu mwaka 2012 Omu ku basaaba emirimu guno Abdul Njuki, agamba nti bamusindika mu […]

Omusawuzi akwatiddwa

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Poliisi mu Kampala ekutte omusawo w’ekinnansi abadde ayambako abakukusa abantu okubatwala ebweru. Akulira poliisi erwanyisa okukusa abantu Moses Binoga omusawo ono amumenye nga Joseph Kyeyune omutuuze we Najjanankumbi mu kampala. Abakukusa abantu babadde bamuleetera abantu bano mbu abanazaako ebisiraani ebibabadde bibalemesa okufuna emirimu ebweru Kino […]

Amayumba g’abasawo gasemberedde okuggwa

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Omulimu gw’okuzimba enyumba z’abasawo be Mulago gusemberedde okuggwa Enyumba zino zakuyamba okutereeza empereeza mu ddwaliro e Mulago kubanga bangi bava bweru, ekikalubya emirimu gyaabwe Yinginiya wa minisitule y’ebyobulamu Henry Matega agamba nti enyumba 100 zeezigenda okusooka okumalibwa  kyokka ng’ekigendererwa kyaabwe kya nyumba 2000 ezijja okukomekkerezebwa […]

Ab’embuto abafa beeyongedde

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Abakyala bakyasanga obuzibu okufuna byebetaaga nga bali embuto ekyongedde omuwendo gw’abafa Bannakyeewa abali mu byobulamu by’abakyala n’abaana bagamba nti abakyala 17 beebafa buli lunaku ate nga bwegutuuka ku baana abawerera ddala 282 beebafa buli lunaku olw’obutafuna ddagala Omu ku bakulu mu mukago gwa bannakyeewa mu […]

Kasasiro abatta

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Abantu ababeera okumpi n’eddwaliro lye Masaka bakooye kasasiro ava mu ddwaliro lino Eddwaliro lino lirina ekipipa kya kasasiro ebweru omusuulibwa kasasiro okuva ku ddwaliro nga kino kiri kumpi n’oluguudo olugenda e Katwe Kasajjagirwa Abatuuze ababeera ku byaalo ebiri okumpi n’ekipipa kino bagamba nti kasasiro abayitiriddeko […]

Okujjanjaba endwadde ezitasiigibwa

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Ab’omukutu gwa yintaneti ogwa Google batandise okunonyereza ku ngeri y’okutegeeramu nti omuntu agenda alina kokoolo, bulwadde bw’omutima oba okusanyalala n’endwadde enzala ezitasiigibwa Bagaala kuyiiya ekyuuma ekiyinza okussibwa ku mukono gw’omuntu nekitegerekeka nti mulwadde. Ekyuuma kino kyakukolagana n’empeke ezimiribwa  olwo omubiri neguzuukuka Okutegeera abantu obulwadde bwa […]

Okusanyaawo obuseegu kwa mwaka gujja

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Akakiiko akagenda okukunganya wamu n’okusaanyawo ebintu byonna eby’obuseegu kakutondebwawo ku nkomerero y’omwezi ogujja. Kino kyasangusiddwa minisita w’empisa n’obuntu bulamu  Rev Simon Lokodo oluvanyuma lw’abantu okwemulugunya nga bwekaluddewo okutekebwawo. Lokodo eky’okulwawo akitadde ku bekikwatako kulwawo kuwaayo mannya gaabo abalina okubeera ku kakiiko kano wabula nga kati […]

Otafire atabukidde bannamawulire

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Mininista akola ku by’amateeka  Gen Kahinda Otafiire atabukidde  bannamawulire abalondoola eyabadde ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi okutuuka mu bulamu bwe obwabulijjo.   Otafiire ategezezza nga bannamawulire kati bwebatakyasaka mawulire ga mazima ku Mbabazi okugyako okumuyiganya.   Agamba n’abakozi ba gavumenti balina eddembe okubeera mu bulamu bwabwe […]