Amawulire

Kashaka azzeemu okusaba afulume

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Kashaka

Eyali omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu John Muhanguzi Kashaka azzemu okusaba kkooti emukirize okweyimirirwa bwekiba kisoboka ajulire nga ava bweeru wa kaduukulu.

Ono kati awakanya eky’omulamuzi okumugaana okweyimirirwa nga okujulira kwe bwekukyawulirwa.

Kashaka ne banne abalala 4 baali baasaba okweyimirirwa ,wabula omulamuzi  Solomy Balungi Bbosa naagana, nga agamba nti ensimbi obuwumbi 4 zeyabuzza tezinalabika .

Kashaka ne banne kati baagala abalamuzi okuli  Steven Kavuma Augustine Nshiimye ne  Rubby Opio Aweri babaddiremu bawoze nga bava bweru.

Kashaka ne banne baasibwa wakati w’emyaka 6 ne 10 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokufiiriza gavumenti obuwumbi , ezaali ez’okugula obugaali bwabassentebe b’ebyalo.