Ebyobulamu

Amayumba g’abasawo gasemberedde okuggwa

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Staffe quarters

Omulimu gw’okuzimba enyumba z’abasawo be Mulago gusemberedde okuggwa

Enyumba zino zakuyamba okutereeza empereeza mu ddwaliro e Mulago kubanga bangi bava bweru, ekikalubya emirimu gyaabwe

Yinginiya wa minisitule y’ebyobulamu Henry Matega agamba nti enyumba 100 zeezigenda okusooka okumalibwa  kyokka ng’ekigendererwa kyaabwe kya nyumba 2000 ezijja okukomekkerezebwa mu myaka 10 egijja

Eng Matega agamba nti enyumba ezinaatera okuggwa zeezo zebatandikako mu mwaka 2013 nga zigenda kuggwa mwaka gujja

Enyumba zino zigenda kubeera za mulembe nga zirimu ne yintaneeti okuyamba abasawo okumanya ebigenda mu maaso mu nsi yonna.