Amawulire

Okusanyaawo obuseegu kwa mwaka gujja

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Simon Lokodo

Akakiiko akagenda okukunganya wamu n’okusaanyawo ebintu byonna eby’obuseegu kakutondebwawo ku nkomerero y’omwezi ogujja.

Kino kyasangusiddwa minisita w’empisa n’obuntu bulamu  Rev Simon Lokodo oluvanyuma lw’abantu okwemulugunya nga bwekaluddewo okutekebwawo.

Lokodo eky’okulwawo akitadde ku bekikwatako kulwawo kuwaayo mannya gaabo abalina okubeera ku kakiiko kano wabula nga kati amannya 9 yagafunye dda era gaakutwalibwa mu kabineti gakakasibwe.

Abatuula ku kakiiko kano bakusaanyawo byonna ebintu by’obuseegu okuyamba okuteeka munkola etteeka ly’obuseegu.