Amawulire

Omukulembeze wa Zambia afudde

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia  Michael Sata afudde. ono afudde ekirwadde ekitanategerekeka ekibadde kimubala embiriizi okumala akaseera. Amawulire mu Zambia galaga nga Sta bweyafudde ku lwokubiri ekiro. Tekinamanyika ani agenda okudda mu bigere by’omugenzi wabula nga kabineti essaawa yonna etuula okulaba ekyokukola. ku ntandikwa y’omwaka guno […]

Karamoja batutte bakibogwe

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Yadde ng’omuntu okwegatta ku maggye alina kubeera n’ebbaluwa ya siniya y’okuna , e Karamoja okusinga batutte baawanduka mu p6 ne p7 mu kuwandiisa abayingira amaggye okwakaggwa. Eyakuliddemu okuwandiisa abantu bano  Col. John Waswa ategezezza nga bwebalemereddwa okufuna abalina obuyigirize obwetagisa kwekusalawo bwebatyo okwewala ekitundu kya […]

Abe Somalia bafunye omukulu omuggya

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Amaggye ga Uganda mu Somalia gafunye omuduumizi omuggya. Omwogezi w’omukago guno Major Deo Akiiki agamba nti Col. Frank Kyambadde y’azze mu bigera bya Brig. Dick Olum. Akiiki agamba nti Col Kyambadde wakukulira kibinja kya 14 ekituuse mu Somalia enkya ya leero.

Eyeberese ku mbwa masasi gegamujjeeyo

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Omukazi asanze omusajja nga yeberese ku mbwa ye emundu yemuzizza engulu Alice omusajja ono amasanze mu nnimiro yaabwe nga yeemalira eggoga ku mbwa Omukazi ono akubye amasasi mu bbanga kyokka ng’ekyewunyisa nti omusajja ono tayimirizzaamu asigadde yefulubejja

Amalwaliro gafunye emifaliso

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Minisitule y’ebyobulamu olwaleero etandise okugaba emifaliso mu malwaliro ga gavumenti Emifaliso gino akanaana gimazeewo akawumbi kamu mu obukadde 250 nga gyaguliddwa oluvanyuma lw’ababaka ababadde balambula amalwaliro ga gavumenti okulagira nti gigulwe Ababaka bano bakizuula nti yadde amalwaliro galina ebitanda, tekuli mifaliso era gyebigweera ng’abalwadde beebase […]

Aba Palamenti basanyukidde omusika wa Kagina

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baniirizza omukulembeze w’ekitongole ekiwooza omuggya era nga bagamba nti bamulinamu essuubi ppitirivu Doris Akol yasikidde Allen Kagina abadde yakabeera mu kifo kino okumala emyaka 10. Akol yawereddwa ekisanja kya  myaka ena era nga bamusuubira okugaziya ensulo z’omusolo okutuuka ku busiriivu […]

Poliisi ekyanonyereza ku wa sipeya eyatta abantu

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Okunonyereza ku musuubuzi wa sipeeya eyatta abantu babiri mu Ndeeba kukyagenda mu maaso. Godfrey Muhirwa avunaanibwa gwakukuba abantu babiri amasasi n’abattirawo ng’abalanga kugezaako kumutta. Omuwaabi wa gavumenti Beatrice Alok ategeezezza omulamuzi wa kkooti ye Makindye George Watyekere nti bakyanonyereza ku mugagga ono. Muhirwa abantu beyatta […]

Bannayuganda besunga paapa

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

.Bannayuganda batandise dda okwesunga okukyala kwa paapa omwaka ogujja Olunaku lwajjo paapa yategeezezza nga bweyesunga okujja mu Yuganda nga bino yabyogedde asisinkanye omukulembeze w’eggwanga. Ababaka ba palamenti beebasoose okwaniriza ekyasaliddwaawo paapa nga bagamba nti paapa ajja n’emikisa Twogeddeko n’ababaka Medard Ssegona, Margaret Kiboijana ne Joseph […]

Gavumenti ebanjibwa obuwumbi 116 mu masanyalaze

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Gavumenti ebanjibwa obuwumbi 116 mu masanyalaze Ensimbi zino zeeyongedde okuva ku buwumbi 89 omwaka oguwedde Minisitule ekola ku by’okwerinda yeeyakasinga obutasasula masanyalaze ng’ebanjibwa obuwumbi 54. Poliisi y’eddako awo ng’ebanjibwa obuwumbi 26 ate ab’amakomera babanjibwa obuwumbi 15 Ebitongole bya gavumenti ebirala ng’obigasse bibanjibwa obuwumbi 17 Wabula […]

Ani asinga ekirevu

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

Kati ebiseera ebisinga tuwulidde empaka nyingi ezewunyisa okuli n’ezabasinga okunywa omwenge. Kuluno mu kibuga Portland mu ggwanga lya Amerika abasinga okubeera n’ebirevu ebiwanvu bebavuganyizza. Ba mandeevu abasoba mu 300 besowoddewo neboolesa ebirevu era buli musono gubadde wali okuvira ddala ku bilimu envi n’ebirala. Madison Rowley […]