Amawulire

Karamoja batutte bakibogwe

Ali Mivule

October 29th, 2014

No comments

Ankunda 2

Yadde ng’omuntu okwegatta ku maggye alina kubeera n’ebbaluwa ya siniya y’okuna , e Karamoja okusinga batutte baawanduka mu p6 ne p7 mu kuwandiisa abayingira amaggye okwakaggwa.

Eyakuliddemu okuwandiisa abantu bano  Col. John Waswa ategezezza nga bwebalemereddwa okufuna abalina obuyigirize obwetagisa kwekusalawo bwebatyo okwewala ekitundu kya Karamoja okuviiramu awo mu kuwandiisa kuno.

Omwogezi w’amaggye ga UPDF ow’ekibinja ekyokusatu  Lt Jimmy Omara agamba oluvanyuma lw’okwebuuza ku bali ku ntiko mu maggye baasazewo okussa ku buyigirize ab’e Karamoja bwebawandiisibwako okusobola okujuza ebifo mu  Nakapiripirit, Kaabong, Kotido, Amudat, Abim ne Napak.

Amaggye baatandika okuwandiisa abantu okuva nga  13th -26th October, nga abaayisemu bakutendekebwa okumala omwaka mulamba e singo ne Kabamba.

 

mungeri yeemu Lt Omara ategezezza nga omuntu omu eyategerekese nga Lozeniko Okechi bweyafudde mu kusunsula kubanga yabadde munafu.