Amawulire

Emirimu gisanyaladde nga Besigye akwatibwa

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Emirimu gisanyaladde ku Hotel ya Brovad e Masaka, poliisi bw’ezinzeeko ekifo n’egoba Dr Kiiza Besigye okuva mu lukiiko olutegekeddwa bannakyeewa Abasirikale abampi n’abawanvu bayiiriddwa ku wooteri ebweru nebalagira Besigye okufuluma Olukiiko luno lubadde lutegekedde kukungaanya birowoozo okuva eri abakulembeze b’ebitundu, bannabyabufuzi, bannaddiini n’abantu ba bulijjo […]

Emisango gyakwanguwa

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Ekitongole ekiramuzi kitongozezza enteekateeka z’okugaba amangu ebibonerezo eria bantu abakkiriza emisango. Ekigendererwa kukola ku bantu mangu era baweebwe ebibonerezo okwewala okubaleka mu makomera nga tebawozesebwanga Atwala abalamuzi, Yorokaamu Bamwine agamba nti era abantu abakkiriza emisango basalirwa ku bibonerezo kubanga baba tebatawanyizza kkooti N’abantu ba bulikko […]

Abakebera aba Ebola babanja

Ali Mivule

October 23rd, 2014

No comments

Abekebejja abantu abayingira mu ggwanga ku kisaawe Entebbe bazzeemu okwemulugunya nti tebasasulwa Abakozi bano abasoba mu 5o baweebwa emirimu mu mwezi gw’omunaana oluvanyuma lw’obulwadde bwa Ebola okutabuka mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa Abamu ku bakozi bano bagamba nti bamaze emyezi ebiri nga tebasasulwa Wabula omuwandiisi […]

Ebola ekyasattiza amawanga

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kisisinkana akadde konna okukubaganya ebirowoozo ku bulwadde bwa Ebola obusenkanyezza enkumi mu mawanga agatali gamu Olukiiko luno olutudde mu Geneva lwakutunuulira engeri y’okunywezzamu ensalo n’engeri gyekiyinza okuyambamu Bino bizze nga mu America, abo bonna abava mu mawanga agalimu Ebola balina okukeberebwa […]

KCCA etusabe eddagala- NMS

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Ekitongole ekitereka ebikozesebwa mu malwaliro kisabye aba KCCA okuwaayo okusaba kwaabwe okufuna eddagala Kiddiridde aba KCCA okutegeeza ng’omujjuzo bwegubayitiriddeko okuva eddwaliro lye Mulago lweryatandika okukolebwaako nga kati n’eddagala lya kwekuba mpi. Akulira ebyobulamu mu KCCA Dr.Daniel Okello agamba nti eddagala lyebasinga obutaba nalyo lyeeyo elikola […]

Abakyala bonna bakeberebwe kokoolo w’amabeere

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Abakyala bonna basaanye okukeberebwa kokoolo w’amabeere Akulira ekibiina ekiyamba ku bakyala abafuna kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti kirina okufuulibwa eky’etteeka nti abakyala bonna bakeberebwa kokoolo ono okusobola okufuna obujjanjabi nga bukyaali Mayengo agamba nti gvaumenti eyinza okukulemberamu omulimu guno ng’ekikola mu malwaliro gaayo gonna. Okusinziira […]

Kkooti egobye okusaba kw’abagambibwa okuba abatujju

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakolebwa abagambibwa okubeera abatujju nga bawakanya eky’okuwozesebwa mu Uganda Abantu bano 11 babadde bawakanya eky’okubajja mu ggwanga lya Kenya ne Tanzania okuvunaanibwa mu kkooti za wano Abalamuzi abataano aba kkooti ya semateeka nga bakulembeddwaamu Steven Kavuma bategeezezza nga bwewataliiwo tteeka […]

Laddu ekubye abaana

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Mu disitulikiti ye Tororo laddu ekubye abaana b’essomero 9 .   Bano bonna bayizi mu ssomero lya  Abubakari Primary School  nga era baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.   Omu ku bakozi b’essomero lino Rose Atabong  nga y’abaddusizza mu ddwaliro ategezezza nga bano laddu bwebakubye […]

Omusajja eyakula n’awola

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Kati munsi waliyo abasajja abatawena. Mu ssaza lya Florida waliwo omusajja eyakula n’awola akwatiddwa nga atwalibwa mu kkomera wabula n’alema okuja mu kamotoka ka poliisi. Howard Hendrix  nga azitowa pawundi 500 era nga muwagguufu yewunyisizza poliisi nga emmotoka gyebaleese okumuteekamu tagyamu. Okukakana batumizza mmotoka kika […]

Ogwa Namubiru gujulidde

Ali Mivule

October 22nd, 2014

No comments

Okuwulira okujulira kw’omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana empiso ya siriimu kwongezeddwayo okutuusa nga 6 November. Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo kino nti kikakali Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga ategezezza nga ensalawo ku musango guno tenategekebwa nga n’omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno […]