Amawulire

Poliisi ekyanonyereza ku wa sipeya eyatta abantu

Ali Mivule

October 28th, 2014

No comments

gun

Okunonyereza ku musuubuzi wa sipeeya eyatta abantu babiri mu Ndeeba kukyagenda mu maaso.

Godfrey Muhirwa avunaanibwa gwakukuba abantu babiri amasasi n’abattirawo ng’abalanga kugezaako kumutta.

Omuwaabi wa gavumenti Beatrice Alok ategeezezza omulamuzi wa kkooti ye Makindye George Watyekere nti bakyanonyereza ku mugagga ono.

Muhirwa abantu beyatta kuliko Muhammad Kiwaana ne Deo Jaaya agambibwa okuba omupoliisi alwanyisa abalina emmundu ate nga yye ow’okusatu yasumattuka n’ebisago ebya maanyi

Omusajjja ono emisango gyagizza nga 15 omwezi guno nga kati addiziddwaayo e Luzira