Amawulire

Ab’e Kabula balindirira Ssabasajja

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

 

Ssabasajja waters plants

 

Enteekateeka z’okukuza olunaku lwa bulungi bwansi ziri mu ggiya nnene mu ssaza lya ssbasajja e Kabula.

Omwami wa ssabasajja mu ssaza lino  Francis Mugumya Ntambazi kati kawefube w’okukunga  abantu amututte nju ku nju buli Muntu agweyo ku lunaku olwo.
Lumama Ntambazi ategezeza nga abantu bonna bwebasaana okwetegekera omutanda ku mukolo guno.

 

Olunaku luno lwakukuzibwa nga  8/11/2014 wali e Kabula wansi w’omulamwa ogugamba nti  “Nyikira Okole bulungi bwansi Ositule Embera yo” nga era ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu.