Amawulire

Abakyala mweyambe- Namwandu wa Mandela

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Graca.jpg1

Abakyala ab’amaanyi mu ggwanga basaanye okukwata ku banaabwe abali obubi ku mikono

Omulanga guvudde eri eyali muka Nelson Mandela Gracia Machel bw’abadde asisinkanye abatendekebwa ku biyinza okuvaamue nsimbi e Kyebando Kawempe

Machel agambye nti abakyala batono abalina ssente enyingi era nga bali mu gafo naye nga abatono abaliwo basobola okuyamba banaabwe abali obubi okwejja mu nyanga

Asabye abakyala okulwana okweyimirizaawo ku lwaabwe ng’olwo lwebajja okutandika okwesalirawo nga tabatuuliddwaako basajja

Olunaku lwajjo omukyala ono yoomu yasabye pulezidenti Museveni gweyayise mwanyina okukkiriza okuva ku ntebe omukyala agitwale