Amawulire

Ababaka baanirizza Byarugaba ku NSSF

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Byarugaba

Ababaka ba palamenti awatali kwetemamu baniirizza eky’okulondebwa kwa Richard Byarugaba  okukulira ekitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya NSSF

Byarugaba yawereddwa emyaka esatu ng’akulira NSSF oluvanyuma lwa kumpi mwaka mulamba ng’ekitongole kino kinoonya omukulembeze omuggya

Ababaka okubadde Alex Byarugaba,Tim Lwanga, Flavia Kabahenda ne Medard Ssegona bategeezezza nga bwebakakasa nti Byarugaba alina obukugu bwonna okutwala ekitongole kino mu maaso.

Yye nno munnamateeka Daudi Mpanga ategeezezza nga bw’agenda okuwaaba ababaka abatuula ku kakiiko akanonyereza ku NSSF olw’okumuyisa mu ngeri etasaana ng’ali mu kakiiko kano.

Mpanga yagobwa ababaka yadde nga ye munnamateeka wa NSSF nga bamulanga kubeera nti era yeeyali awolereza David Chandi Jamwa ng’ono yeeyali akulira ekitongole kino.

Mpanga ku babaka okuli Vincent Bamulanzeki Ssempijja, Joseph Ssewungu ne Teopista Ssentongo.