Amawulire

Owa Nigeria wakuddamu okwesimbawo

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Goodluck Jonathan

Omukulembeze w’eggwanga lya Nigeria  Goodluck Jonathan akakasizza nga bwagenda okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti omwaka ogujja mu mwezi 2.

Wabula ono ayolekedde olusozi gambalagala olw’okukolokotebwa okulemererwa okulwanyisa abakambwe ba Boko haram nga bano baawamba abawala 200 gyebuvuddeko.

Abajambula bano beddiza kumpi ekitundu kya Mubi kyonna mu bukiika kkono bw’eggwanga.

Bino webijidde nga gavumeti n’abayeekera bano bateesa okuteeka wansi eby’okulwanyisa olwo basobole okuyimbula abawala bano bebaawamba.