Amawulire

Bugana ssiyakusengula muntu yenna

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Katiikro and booze cultural

Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga awakanyizza nti Buganda erina enteekateeka ezisengula abo bonna bali ku ttaka lyaayo

Katikkiro era agamba nti teri Muntu ali ku kizimbe kya Buganda agenda kugobwa

Bino kamalabyonna abyogedde akwasibwa essaza lye Buddu e Masaka eryawambibwa gavumenti ya Apolo Milton Obote mu mwaka gwa 1966

Owei Mayiga agambye nti Buganda ebadde ewulira engambo zino nti yakugoba abantu naye nga ssibwekiri

Agamba nti Buganda ky’eyagala kufuna byaayo olwo eteese n’ababiriko ku ngeri y’okufuna omusolo