Amawulire

Kamuswaga abanja

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

land issues

Kamuswaga we  Kooki Apollo Ssansa Kabumbuli akubye gavumenti mu mbuga z’amateeka nga ayagala kuliyirirwa obuwumbi 70 nga alumiriza nga bwebaawamba ettakalye.

Ettaka erogerwako lisangibwa  Mutundwe ne Nabingo nga kigambibwa nti lyawambibwa gavumenti mu 1966.

Nga ayita mu bannamateekabe aba  Bashasha and company advocates, Kamuswaga agamba oluvanyuma lw’okuwera obufuzi bw;ensikirano, gavumenti yeddiza ettaka lino nga kati kuliko abasenze.

Ebiwandiiko bya kkooti biraga nga enfunda eziwera ono bwasuubiziddwa okuliyirirwa n’ogwasemba gwali gwa 2010 pulezidenti Museveni bweyalagira eyali minisita w’ebyettaka Daniel Omara Atubo okubalirira ssente ezetagisa okusasula kamuswaga.

Kamuswaga era ayagala asasulwe amagoba geyandifunye mu ttaka lino okuva mu 1966.

Omuwandiisi wa kkooti  Micheal Otto awadde gavumenti ennaku 30 okwewozaako.