Ebyobusuubuzi

Lufula KCCA egitwale

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

ABBATOIR

Minisita omubeezi akola ku by’okulondoola ebyenfuna alagidde ekitongole kya KCCa okweddiza lufula y’eggwanga esangibwa ku luguudo lwa Portbell road.

Henry Banyenzaki nga mu kadde kano era ye minisita wa kampala asabye KCCA okutandika okuwooza abakinjaaji bano embagirawo.

Ekiragiro kino kiggyidde mu kaseera nga waliwo okusika omuguwa wakati w’abakinjaaji ne naggagga Basajja Balaba ku ano nanyini lufula eno.

Mu bbaluwa minisita gy’awandikidde KCCA, agiragidde okudda okwetegereza liizi eyaweebwa Basajjabalaba

Banyenzaki agamba nti okumalawo okusika omuguwa, abakinjaaji ne Basajja balaba bonna bagibweeko obuyinza ku lufula eno KCCA egyeddize okutuuka ng’entalo ziweddewo.