Amawulire

Kaihura afunye ekisanja ekirala

Ali Mivule

October 30th, 2014

No comments

Senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura ayongeddwa ekisanja kya myaka ena

kaihura new

Kiddiridde okukakasibwa palamenti olunaku lwaleero.

Asuubizza okukyuusa ekifananyi kya poliisi n’enkolagana yaakyo n’abantu.

Bino Kaihura abyogedde yakava mu kakiiko ka palamenti akasunsula abo abalondeddwa pulezidenti Museveni okukola emirimu egitali gimu.

Ono yegaanye okubaamu kyekuubira n’agamba nti abamulwana beebo abazzi b’emisango kale nga ssibakumuyigula ttama.

Akakasizza nti azzeemu ebyo byonna ebimubuuziddwa nga kati akakiiko keekasigalidde okumukakasa

Kaihura yakakulira poliisi kati emyaka mwenda nga ye ssabapoliisi esinze okuwangaalira ku bukulembeze ku mulembe gwa Museveni

Ekisanja yafuna kya myaka ena emirala